Yabadde ne banne Henry Banyenzaki (Rubanda West) ne Theodro Ssekikubo (Lwemiyaga) mu lukung’ana lwa bannamawulire ne beemulugunya olwa palamenti okuggya ku kaguwa abanene mu gavumenti naddala baminisita abasongebwamu ennwe nti beenyigira mu mivuyo gya CHOGM.
Abamu ku banene akakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo be baasongamu ennwe kuliko omumyuka wa pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya , ba minisita Amama Mbabazi , Hope Mwesigye , Sam Kuteesa n’abalala.
Baagala baminisita bagobwe