TOP

Abayeekera balonze ababakulira

Added 29th March 2011

Lwakutuulako abantu 31, nga baalondeddwa okuva mu bitundu  by’eggwana eby’enjawulo n’ebibuga, kyokka ng’amannya g’abagenda  okukiikirira ebitundu  ebitannaba kuwambibwa  gakuumiddwa nga gakyama olw’embeera y’ebyokwerinda.

Ebitundu  ebyogerwako  mwe muli; Ajdabiya, Kufra,Ghat,

Lwakutuulako abantu 31, nga baalondeddwa okuva mu bitundu  by’eggwana eby’enjawulo n’ebibuga, kyokka ng’amannya g’abagenda  okukiikirira ebitundu  ebitannaba kuwambibwa  gakuumiddwa nga gakyama olw’embeera y’ebyokwerinda.

Ebitundu  ebyogerwako  mwe muli; Ajdabiya, Kufra,Ghat, Nalut, Musrata, Zintan ne Zawiya.  Olukiiko luno  luliko abakyala bataano n’abavubuka bataano ng’obuvunaayizibwa obuluweereddwa  bwakulung’amya abantu mu byobufuzi, okulaba ng’abantu bafuna ebyetaagisa mu bulamu obwabulijjo wamu n’okukiikirira Libya mu mawanga ag’ebweru.

Bammemba be bano:
Mustafa Mohammed Abdul Jalil
Ssentebe w’akakiiko kano nga yali minisita w’amateeka mu gavumenti ya Gaddafi  n’alekulira ng’awakanya engeri bannansi abaali beekalaakasa nga tebalina kyakulwanyisa kyonna gye batulugunyizibwamu. Yazaalibwa 1952 mu kibuga Bayda ekimu ku byasooka okubaamu abeekalakaasa nga bawakanya enfuga ya Gaddafi.

Alina diguli mu mateeka n’eddiini y’Obusiraamu.  Yakolako ng’omuwaabi wa gavumenti nga tanafuulibwa  mulamuzi  mu 1978. Mu 2002 yalondebwa  okukulira kkooti ejulirwamu n’oluvannyuma naalondebwa okuba minisita w’amateeka mu 2007. Ebbanga lino yafuna ettutumu olw’okusala emisango nga teeyekubidde ku ludda lwa gavumenti.

Ekiseera kye yamala nga  minisita  ebitongole ebirwanirira eddembe ly’obuntu byamusiima olw’okulongosa amateeka ga Libya.
  Nga March 9, ttivi ya Libya  yategeeza nga Col. Gaddafi bwe yassaawo ekirabo kya ddoola 400,000 , eri omuntu anaamukwata.
Omar al-Hariri, 67: Ow’ebyokwerinda. 

Y’omu ku beenyigira mu lutalo olwaleeta Gaddafi mu buyinza mu 1969, kyokka oluvannyuma yamukwata naamusiba bwe yagezaako okuwamba gavumenti ye.
Ava mu ggwanga lya Farjan omuva n’abakuumi ba Gaddafi ab’oku lusegere. Agambibwa okuba ng’amanyi bingi ku Gaddafi kuba bwe baali mu magye baali ba nfa nfe.

Abdul Hafez Ghoga-Mumyuka wa ssentebe era omwogezi
Munnamateeka era alina obukugu mu kukunga abantu. Yakwatibwa  nga February 19, ng’olutalo lwakatandika kyokka n’ayimbulwa mu kkomera. Yafuna ettutumu oluvannyuma lw’okwerangirira nga bwali omwogezi w’akakiiko akafuzi n’oluvannyuma n’alondebwa okuba omumyuka w’akakiiko.

Mutabani wa Gaddafi, Saif al-Islam  yamwogerako nga mbega kuba y’omu ku baali basaakaanya nga balaga obuwagizi bwabwe eri Gaddafi kyokka mu kaseera katono yeekyusa n’asala nadda ku bayeekera.

Mahmoud Jibril: Nsonga z’ebweru
Ng’olutalo terunnabaawo, yali akolera  mu pulojekiti ya Libya Vision n’abakenkufu abalala okutema okuyamba Libya okufuuka eggwanga eritambulira ku nfuga ya demokulasiya. Yaweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okukulira akakiiko akagenda okutunula mu binaaba bisaliddwawo abayeekera nga tebinnaba kussibwa mu nkola.

Yazaalibwa 1952, alina diguli ssatu ng’ebbiri za byabufuzi ate endala ya byankulaakulana okuva mu yunivasite y’e Pittsburgh mu Pennsyvania (Amerika).

Yaliko ssentebe w’akakiiko akateekateeka ebyenfuna bya Libya n’oluvannyuma n’alondebwa okuba ku kakiiko akasendasenda bannamakolero okugenda e Libya.

Ali Issawi
Yalekulira ekifo ky’omubaka wa gavumenti ya Libya mu Buyindi nga February 21, ng’awakanya engeri gavumenti gye yatulugunyangamu bannansi  n’okukozesa abalwanyi okuva mu mawanga amalala.

Yazaalibwa mu 1966 era alina diguli ssatu mu byenfuna mu yunivasite y’e Bucharest - Romania. Yaliko minisita w’ebyenfuna era nga ye minisita asinga obuto eyali abaddeko mu kifo kino.

Mu kyukakyuka  gavumenti ze yakola mu March 2009, baamusula bbali.

Ahmed al Zubair Ahmed al-Sanusi
Yavunaanibwa olw’okwekobaana n’abaali baagala okumaamulako gavumenti ya Gaddafi mu 1970.  Mu kkomera yamalayo emyaka  31, era baamuyimbula ku lunaku Libya bwe yali ejjaguza emyaka 32, egy’ekyukakyuka.

Ali mu lulyo lwa Kabaka Idriss al-Sanusi. Ye muyeekera yekka ali mu bukulembeze ava mu lulyo luno.

 

 

 

 

 

      

 

 

Abayeekera balonze ababakulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....