Mu lipoota eyafulumiziddwa abantu bataano be baggyiddwaako omusaayi, okuli abakaayanira omwana Nakintu ne Nnaalongo Nakafeero, Junior Katende, bba wa Nakintu, Ronald Katende n'omulongo Joshua Kato.
Nakafeero ow’e Kawempe Ttula yaggulawo omusango ku poliisi e Kawempe nti yabbibwako omwana we omulongo omu, Wasswa mu July 2010 bwe yali amukwasizza omuwala Jackie ng’agenze okunaaba ne bifulimizibwa mu Bukedde.
Nakafeero yatemezebwako mukwano gwe Jane nti wa-liwo om-wana afaa-nana owu-we nga yam-ulaba mu bitundu by’e Lugoba nga bamuyita Wasswa wabula taliiko mulongo munne.
Nakafeero yaggulawo omusango ku Nakintu ow’e Kazo Central n'akwatibwa era omwana n’amuggyibwako.
Gavumenti yabasasulidde okuzuula ebikwata ku musaayi gwabwe era kyazuuliddwa ng’omwana wa Nakintu bwetyo poliisi y’e Kawempe n’emumukwasa mu butongole.
Wabula Nakintu agamba nti okuva amawulire bwe gaafuluma nti yatwala omwana wa munne, takyayala nga buli waayita abantu bamuteebereza okubba omwana kyokka nga wuwe.
“Abantu baali banzitira mu paaka enkadde gye buvuddeko era bangoba ne ku mulimu we nnali nkola mu Kikuubo nga nabo balowooza nti ndi mubbi w’abaana. Njagala bakikakase nti ebya-zuuliddwa biraga nti omwana wange nzireyo ku mulimu gwange,’’ bwe yagambye.
Akulira bambega ba poliisi e Kawempe, Paul Mugisha yag-ambye nti okunoonyereza kug-enda mu maaso okuzuula om-wana wa Nakafeero eyabula.
Nnaalongo eyali akaayanira omwana amuggyiddwaako n’addizibwa nnyina