TOP

Abazigu basibye famire akandooya ne banyaga

Added 23rd March 2011

David Mugisha Bahati ne mukazi we Diana Murerwa ab’e Kabumbi mu Nansana East II Ward, be baakozeeko effujjo lino.

Mugisha yasangiddwa ng’asibiddwa emikono emabega n’omuguwa nga bamutadde n’ekiwero ku mumwa.
Baamuganzise mu ddiiro ate mukyala we yabadde mu kisenge nga naye asibiddwa a

David Mugisha Bahati ne mukazi we Diana Murerwa ab’e Kabumbi mu Nansana East II Ward, be baakozeeko effujjo lino.

Mugisha yasangiddwa ng’asibiddwa emikono emabega n’omuguwa nga bamutadde n’ekiwero ku mumwa.
Baamuganzise mu ddiiro ate mukyala we yabadde mu kisenge nga naye asibiddwa akandooya nga muwala we ow’emyaka ebiri yeebase ku mabbali.

“Nnawulidde omwana ng’aka-aba kyokka nga ssiwulirayo kanyego kwe kutegeeza ku batuuze ne tukonkona kyokka nga tewali ayanukula,” Robert Ssemakula muliraanwa waabwe bwe yategeezezza.

Oluggi lwabadde lusibiddwa n’ekkufulu, abatuuze kwe kulingiza mu ddirisa ne balaba Bahati ku miguwa. Baayise ssentebe Bernard Sserwadda naye eyayise Poliisi.  Omuserikale yakozesezza akafumu akaabadde ku mmundu ye n’amenya kkufulu ne babaggyamu.  

Bombi baabadde tebate-geera bulungi nga Mugisha akankana. Abatuuze baga-mba nti Mugisha alina a abamuyigganya era abadde yaakadda ku kyalo oluvannyuma lw’okuwambibwa abantu abaamuggya  ewuwe wiiki bbiri emabega n’azuulibwa nga bamusudde e Kibaale.

Poliisi yatutte omwana ate abazadde  n’ebatwala  e Mulago.

Abazigu basibye famire akandooya ne banyaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...