Abaana bano mulimu abalina empisa embi. Bw’akusaba ssente n’otamuwa mulimu abavuma abalala bakuwandulira amalusu. Balowooza babammye sso nga naawe oyinza okuba nga tolina z’ofissaawo.
Waliwo abakwagula ne bakuleetako ebisago. Abaana bano basaana kussibwa mu kifo kimu mubalabirire era baddeyo basome kuba Gavumenti erina enkola ya ‘bonna basome’.
Bwe kiba kisoboka abaana n’abazadde babazzeeyo ewaabwe babafunire ebyokukola. Aba KCC batera okuyoola abantu bano naye ndowooza esaana eyongeremu amaanyi baleme kuddira ddala.
Fred Kateregga,
Ntinda.                           Â
Abaana mubaggye ku nguudo