TOP

Mu Central n’e Kawempe balwanye

Added 2nd March 2011

Ku Civic Centre ekisangibwa ku National Theatre, okulonda kusaziddwamu ng’erinnya lw’omu ku bavuganya ku bwakanasala Johnson Ssenono teriri ku kalulu.

Mu muluka gwa Mengo nayo okulonda bakansala abasajja kwasaziddwaamu ng’erinnya lya Denis terijjidde ku kalulu.
 Ate poliisi y’e Kamp

Ku Civic Centre ekisangibwa ku National Theatre, okulonda kusaziddwamu ng’erinnya lw’omu ku bavuganya ku bwakanasala Johnson Ssenono teriri ku kalulu.

Mu muluka gwa Mengo nayo okulonda bakansala abasajja kwasaziddwaamu ng’erinnya lya Denis terijjidde ku kalulu.
 Ate poliisi y’e Kampalamukadde yakutte omusajja eyabadde alonda kyokka ng’erinnya lye teriri ku lukalala lwa balonzi.

Okukwatibwa kiddiridde ba ajenti ba bakansala Olive Kituyi (atalina kibiina) ne Emma Matovu (FDC) okumwekengera era baagenze okwekenneenya ng’erinnya lye ly’agenda okulonderamu ssi lirye ne bamukuba kyokka poliisi n’emutaasa. Oluvannyuma Poliisi yakutte ba ajenti: Jennifer Ajambo owa Kituyi ne Henry Mubiru owa Matovu olw’okukuba muntu.

E Kawempe ekibinja ky’abantu 18 nga kuliko abalina basitoola babiri nga bali mu ngoye ezaabulijjo baazinze eyavuganyizza ku bwassentebe bw’eggombolola eno, Emmanuel Sserunjogi ne bamukuba emiggo n’abawagizi be.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu, abasajja bano bwe baabazingizza ku ofiisi ze mu Lufula Zooni e Bwaise .
Sserunjogi yazimbye omubiri era n’avaamu omusaayi mu nnyindo n’omuwagizi we Abdu Kaggwa n’atwalibwa e Mulago ng’ali bubi.

Yagguddewo omusango gw’okubatulugunya ku poliisi e Kawempe ku fayiiro nnamba SD:11/02/03/11
Ate e Makerere, bazibye oluguudo olugenda mu Kikoni okumpi ne poliisi nga mwe batadde ekifo ekironderwamu era wano eyeesimbyewo Dan Saali we yalondedde.

E Kawempe Mbogo eyeesimbyeewo ku bwakansala bwa Kawempe I , Ying. Katumba yagugulanye n’akulira eby’okulondeesa mu kitundu kino lwa kuggya ku bakuuma obululu bwe ebbaluwa ze yabawadde okukakasa nti bagenda kumukuumira obululu.

POLIISI y’e Kampalamukadde yakutte omusajja eyabadde alonda kyokka ng’erinnya lye teriri ku lukalala lwa balonzi.

Omusajja ono okukwatibwa kiddiridde ba ajenti ba bakansala Olive Kituyi (atalina kibiina) ne Emma Matovu (FDC) okwekengera omusajja ono era bagenze okwekenneenya ng’erinnya lye yabadde agenda okulonderamu ssi lirye era kwe kumubuuza ebimwogerako nga talina abantu kwe kutandikla okumukuba wabula Poliisi n’emutaasa.

Oluvannyuma Poliisi yakutte ba ajenti: Jennifer Ajambo owa Kituyi ne Henry Mubiru owa Matovu nabo ne baggalirwa ng’ebalanga kukuba muntu.

Mu Central n’e Kawempe balwanye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...