Omubala gw'essaza ogw'o-mwaka gwabadde gugamba nti ' talanta gy'olina ogikozesezza otya okugasa abalala ' nga muno mwabaddemu am-aka okubeera awamu, okunnyikiza Kristu mu maka, okuzaala n'okukuza abaana ku musingi omulungi.            Â
Omukolo gw’okujaguza gwabaddewo ku Ssande ku Lutikko y'essaza e Lugazi.
Yagambye nti wakyaliwo obwetaavu bungi omuli okusomesa abaana  ku musingi gwa Eklezia n'agamba nti wadde Eklezia erina amasomero mangi ate agakola obulungi, waliwo abamu abatafuddeeyo kutwalayo baana basobole okufuna omusingi omulungi
Yannyonnyodde nti wadde seminaaliyo y’e Nyenga weeri abaana abagendayo bakyali batono naddala abava mu ssaza ly'e Lugazi.
Yennyamidde ku busambattuko mu maka n’agamba nti bukyali bungi nga buno buvaako amaka okusasika abaana ne bakula nga tewali abalung’amya.Â
Omukolo gwetabiddwaako ababaka ba palamenti abalonde okuli JC Muyingo owa Baamunaanika, Betty Nambooze wa Mukono Munisipaali, Baker Ssali owa Buikwe West n’abalala.
Twewale ebivaako entalo-Sekamanya