TOP

Bawakanya okuddamu okubala obululu

Added 28th February 2011

Abawagizi ba Lulume baakutte amayinga n'ebiti ne baziba enguudo ezigenda ku kitebe kya Disitulikiti e Buikwe n'olugenda e Kiyindi kyokka poliisi n’erwanagana nabo nga bwe babakubamu omukka ogubalagala n'okukwata abamu.

Ttiyagaasi yatuuse ne ku ssomero lya Buikwe Modern P/S, abayizi ne babalagi

Abawagizi ba Lulume baakutte amayinga n'ebiti ne baziba enguudo ezigenda ku kitebe kya Disitulikiti e Buikwe n'olugenda e Kiyindi kyokka poliisi n’erwanagana nabo nga bwe babakubamu omukka ogubalagala n'okukwata abamu.

Ttiyagaasi yatuuse ne ku ssomero lya Buikwe Modern P/S, abayizi ne babalagira okudda eka nga bwe bafeesa n’okukaaba.

Aba  Lulume okuva mu mbeera kyavudde  ku bubbokisi bw'obululu obubadde bukuumibwa mu ofiisi z'akakiiko k’ebyokulonda e Buikwe okuggyibwaayo nga ssatu teziriiko nvumbo eyali essiddwaako ate ng’endala musanvu zo ebi-saanikira byaazo birebevu.

Baawakanyizza    okuddamu okubala obululu ne batiisa obusungu okubumalira ku buli abasala mu maaso. Okuddamu okubala obululu mu Buikwe South kyavudde ku David Mutebi owa NRM okuwangulwa Dr. Lulume Bayiga mu kulonda kw'ababaka ba Palamenti kyokka Mutebi n'awakanya ebyavuddemu.

Mutebi yagenze mu kkooti e Mukono ne yeemulugunya, omulamuzi Mary Ikit n'alagira okubala obululu kuddibwemu. Akakiiko   k’ebyokulonda kaasindise Ibrahim Kakembo okukulira okubala obululu wakati mu kuwakanyizibwa.

Bannamateeka ba Lulume bazze ne bakkiriza okubala obululu kutandike kyokka baabadde batandise ne Lulume n’atuuka n’abigaana ng’alaba obubokisi obumu ssi busibe n’agamba nti baabukuttemu.

Mutebi ne Bayiga  baata-ndise okuwanyisiganya ebisongovu, era abaakakiiko baliko gye baakubidde essimu ne babalagira okuyimiriza okubala obululu basooke badde mu kkooti nga Lulume bwe yasabye.

Mutebi yasigadde awera nti ekkubo ly’akutte bwe litavaamu mulamwa agenda mu Kkooti esingako.

Bawakanya okuddamu okubala obululu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...