Kigambibwa nti Nsambi yateze akamasu n’atuma basajja be ewa Tugume bamutwalire akakadde k’ensimbi mu bbaasa oluvannyuma n’amuwendulira poliisi era Tugume yabadde yaaka-zikwata poliisi n’eyingirawo.
Polisi egamba nti si gwe gusoose Tugume okumukwatira mu muze guno, yasaba Patrick Sserugo eyali yeesimbyewo okukiikirira abavubuka ku LC1 mu Ggombolola y’e Mazinga, emitwalo 50 asobole okumulangirira nga talina amuvuganya kyokka poliisi n’ebirinnyamu eggere bwe yamukwata n’emitwalo 20 nga zivudde wa Sserugo.
Omwogezi wa poliisi mu Masaka yakakasizza okukwatibwa kwa Tugume wamu n’ensimbi akakadde kamu ze baasanze bamuwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Polisi yagguddewo omusango ku fayiro nnamba SD:1/26/02/2011.
Akulira okulonda e Masaka akwatiddwa