TOP

Abaakubiddwa mu kulonda balulojja

Added 25th February 2011

Nnaalongo Kabanda atunda enkoko mu katale e Nakasero agamba nti yakedde ku ssaawa 11.00 kyokka yabadde yaakatuuka ne wabaawo emmotoka ey’ekika kya Supercustom eyazze nga mulimu abasajja nga bakutte emiggo n'amayinja ne batandika okuligita abasuubuzi emiggo.

Omuserikale eyazze okutaasa yakubye a

Nnaalongo Kabanda atunda enkoko mu katale e Nakasero agamba nti yakedde ku ssaawa 11.00 kyokka yabadde yaakatuuka ne wabaawo emmotoka ey’ekika kya Supercustom eyazze nga mulimu abasajja nga bakutte emiggo n'amayinja ne batandika okuligita abasuubuzi emiggo.

Omuserikale eyazze okutaasa yakubye amasasi era mu butanwa ne gakuba Nnaalongo Kabanda mu kisambi.

Mike Bagenda naye omusuubuzi w’e Nakasero annyonnyola nti: mbadde nnoonyeza Peter Sematimba obululu kyokka abasajja abatannategeerekeka baatuguddemu ne batuligita emiggo nze ne nziruka okwetaasa wabula ne bangoba ne bankwatira ku Shoprite ne bankuba ebiyinja nga balinga abakuba omubbi!
Hussien Lubega yagambye nti: Ndi muvuzi wa bodaboda era nnasoose kutwala musa-abaze bwe nabadde nkomawo nnayise ku Super FM wano we nnasanze abakuba emiggo ne bansikambula ku pikipiki ne bankuba ebiyinja n'emiggo sazzeemu kutegeera ne pikipiki yange simanyi gy’eri.

Omusajja omulala atakyasobola kwogera mannya ge yakubiddwa n’azirika era ali mu mbeera mbi mu ddwaaliro e Mulago gy’ajjanjabirwa. Abaakubiddwa bonna balumiriza nti ekyabakubizza y’embiranye y’abeesimbyewo ku kifo kya meeya wa Kampala.

Abaakubiddwa mu kulonda balulojja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasawo nga balaga omusajja engeri y'okukozesaamu enkola eno.

Batongozza enkola y'okukebe...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu nga bali n'abakugu okuva mu kitongole kya America ekya  PEPFAR wamu ne gavumenti...

Mmotoka Ykee Benda mwe yabadde.

Engeri Ykee Benda gye yasim...

''OLUVANNYUMA lw'okusimattuka akabenje akaabuzeeko katono okutwala obulamu bwe, omuyimbi Ykee Benda avumiridde...

Caral Nantongo bamukoledde ...

Carol Nantongo avudde ku kabaga k'amazaalibwa ge nga munyivu lwa bayimbi banne abayitiddwa okumujagulizako obutalabikako....

Mawejje ne Mukwaya

Famire z'abattiddwa zaagala...

FFAMIRE z'abantu abaakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa ku Lwokusatu baagala Gavumenti ebaliriyirire. Charles...

Sipiika Kadaga

Palamenti evumiridde effujj...

PALAMENTI eteesezza ku mbeera eriwo mu ggwanga ery'okwekalakaasa n'okukwatibwa kw'abamu ku bannabyabufuzi, ababaka...