Rakai
Vincent Ssemakula Ssettuba (NRM) yawanguddwa omusomesa wa pulayimale Benon Robert Mugabi 40, eyeesimbyewo nga tajjidde mu kibiina kyonna. Mugabi abadde ssipiika w'Olukiiko lwa Kamuswaga yafunye obululu 53,365 ate Semakula n’afuna obululu 32,845. Eyakulidde okulonda mu disitulikiti Jacque Mbura ye yalangiridde Mugabi ku buwanguzi.
Mpigi
John Mary Luwakanya owa NRM yawangudde banne bana; Luwakanya yafunye obululu 23,753; Frank Kawooya (IND) 13,649; Francis Xavier Katabalwa (DP) 5,239; John Bosco Kakooza (IND) 1,175; ate Peter Lwanga (IND) n’afuna obululu 1,088. Luwakanya yalangiriddwa akulira eby’okulonda e Mpigi Hajati Sarah Bukirwa.
Butambala
Godfrey Bavekuno Mafumu (NRM) yawangudde n’obululu 15,163; Nooh Bukenya (IND) eyamuddiridde n’afuna 4,385; Maluufu Ssekabira (JEEMA) yafunye 551 ate Sulaiman Gumira Mbuga (IND) n’afuna obululu 284. Akulira eby’okulonda mu Butambala Mark Muganzi ye yalangiridde Bavekuno ku buwanguzi.
Gomba
Semu Kyabangi (NRM) yawangudde n’obululu 12,656; n’addirirwa Geoffrey Kiviiri (IND) abadde ssentebe ow’ekiseera eyafunye obululu 7,771; J.B Mugerwa yafunye 5,212 ate Joseph Sserubidde n’afuna 214.
Sembabule
Dr. Elly Muhumuza (NRM) yawangudde Herman Ssentongo ssentebe wa disitulikiti aliko kati eyabadde yeesimbyewo ku lulwe. Muhumuza yafunye obululu 39,622 ate Ssentongo n’afuna obululu 25,445 mu kulonda okwabaddemu effujjo mu bitundu ebimu.
Bukomansimbi
Muhammad Kateregga owa JEEMA yawangudde Nnaalongo Tibulya Matovu owa NRM abadde akola nga ssentebe wa disitulikiti eno ow'ekiseera okuva lwe yakutulwa ku Masaka omwaka oguwedde. Kateregga yafunye obululu 14,263; Tibulya n’afuna 12,948; Fred Nyenje Kayiira yafunye 4,423; ate Anas Mawanda n’afuna 1,261.
Kalungu
Owa DP Emmanuel Musoke yawangudde n’obululu 17,566 n’addirirwa owa NRM Richard Kyabaggu eyafunye obululu 15,011 ate Umaru Golooba Matovu abadde awagirwa ab’omukago gwa IPC n’afuna 901. Akulira eby’okulonda mu Kalungu Immaculate Namazzi ye yalangiridde Musoke ku buwanguzi.
Mityana
 Munnamateeka Joseph Luzige abadde yeesimbyewo ku lulwe awanguddwa. Muky. Deborah Kinobe yawangudde ekifo kino n’obululu 26,615; owa DP Mubambwe Lukonge yakutte kyakubiri n’obululu 23,642 ate olwo Luzige n’akwata eky’okusatu n’obululu 9,874.
Luweero
Abdul Nadduli yalondeddwa ku Bwassentebe bwa disitulikiti nga yafunye obululu 40,921. Ronald Ndawula yakutte kyakubiri n’obululu 31,431 ate Absolom Bwanika Bbaale owa FDC n’akwata ekifo kyakusatu n’obululu 1,919. Akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Luweero, Peter Kasozi ye yalangiridde Hajji Nadduli ku buwanguzi, era Nadduli n’ategeeza nga bwatajja kugoba mukozi yenna.
Nakaseke
Ignatius Kkoomu Kiwanuka yamezze Eriphaz Ssekabira eyali omwogezi w’eddwaaliro ly’e Mulago nga yafunye obululu 38,392 ate Ssekabira n’afuna obululu 1,632. Sarah Kalyowa eyakulidde eby’okulonda mu disitulikiti y’e Nakaseke ye yalangiridde Kkoomu ku buwanguzi, kyokka abalonzi baagambye nti ebyavudde mu kalulu baabadde babisuubira, oluvannyuma lwa Koomu okutabagana ne Minisita Syda Bbumba bwe baali ku mbiranye mu by’obufuzi bwa Nakaseke.
Â
Abaawangudde obwassentebe bajaganya