Abawala abasinga ekibafunisa abasajja abakulu baba baagala ssente n’okubagulira ebintu eby’ebbeeyi nga leediyo, ttivvi abamu basaba n’emmotoka.
Nsaba abawala mweggyemu omuze gw’okwegomba. Muzadde wo bw’aba tasobodde kukuwa bintu ebyo ate totandika kunoonya banaabikuwa kuba bayinza okukuleetera obuzibu.
Bw’oba olinayo omulenzi omuto mugume mujja kwezimba mpola kuba ssente zikolwa mulamu. Gwe okutandika okuwankawanka ate naye ojja kumusiiga obulwadde ate osanga naye abusiiga omulala singa mufuna obutakkaanya.
Henry Galiwango,Katwe.
Abawala temwemalaamu kitiibwa lwa kwagala ssente