TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munoonyereze ku beerimbika mu baserikale ba poliisi

Munoonyereze ku beerimbika mu baserikale ba poliisi

Added 16th February 2011

Nsaba akulira poliisi okukola okunoonyereza ku bantu abeerimbika mu mulimu gwagwe ne babba abantu.

Engeri abantu gye batalina mirimu abamu bakozesa bukalabakalaba okufuna kye banaalya. Obumu ku bukodyo bwe bakozesa bwa kwefuula baserikale ne bakwata abantu okukkakkana nga babaggyeko ssente.

Abantu bano bavumaganya omulimu gwammwe kuba bye bakola tebaba bamazima. Nsaba mukole ebikwekweto buli kiseera mu bitundu eby’enjawulo okulwanyisa ababbi abo.

Ennaku zino abakozesa obukujjukujju bangi okuggya ku bantu ssente. Abamu babagamba nti babanoonyeza mirimu wabula ng’olina okubasasulayo ku ssente. Abalala bagamba abantu nti bajja kubafunira viza bagende mu mawanga g’ebweru beefunire emirimu egy’amaanyi abalala ne beefuula abasawo mu malwaliro.

Nsaba naffe Bannayuganda abantu abakozesa obukujjukujju okubaloopa amangu singa obaako be weekengedde.

Harriet Nakimuli,
Kira.

Munoonyereze ku beerimbika mu baserikale ba poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....