TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi abakolera ku Kafumbe-Mukasa bacacanca

Abasuubuzi abakolera ku Kafumbe-Mukasa bacacanca

Added 9th February 2011

Enguudo zino ebbiri zigenda kukolebwa omulundi gumu nga ziweereddwa kkampuni ya Stirling Civil Engineering Ltd  eyaakamaliriza okukola oluguudo lw’e Kiboga. Ate kkampuni ya Dotts Services eragiddwa emalirize omudumu ogutambuza kazambi okuva mu maka g’abatuuze mu Kisenyi.

Okukola enguudo zino

Enguudo zino ebbiri zigenda kukolebwa omulundi gumu nga ziweereddwa kkampuni ya Stirling Civil Engineering Ltd  eyaakamaliriza okukola oluguudo lw’e Kiboga. Ate kkampuni ya Dotts Services eragiddwa emalirize omudumu ogutambuza kazambi okuva mu maka g’abatuuze mu Kisenyi.

Okukola enguudo zino kiddiridde kansala Salim Uhulu ne banne okuli Godfrey Kayongo owa St. Balikuddembe okukyaza Pulezidenti Museveni gye buvuddeko ne bamulambuza enguudo zino era n’abakakasa nti zigenda kukolebwa mu bbanga ttono.

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’enguudo, Eng. Mugisha Obyero yagambye nti kino kiragiro kya pulezidenti era kkampuni egeza n’ezannyira mu mulimu egenda kubonerezebwa.

Yagambye nti enguudo bbiri zigenda kumalawo obuwumbi butaano ate omudumu gwa kazambi gugenda kumalawo akawumbi kamu n’obukadde 400.

Wabula abatuuze b’ekitundu abaakulembeddwa Salim Uhulu balabudde kkampuni ya Dotts nti ku luno tebaagala muzannyo. Ate omumyuka wa Town Clerk atwala ggombolola ya Kampala Central Justine Kasule yasiimye minisitule ya gavumenti ez’ebitundu ebawadde ssente okukola enguudo zino.

Abasuubuzi abakolera ku Kafumbe-Mukasa bacacanca

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...