Okukwatibwa kwa Kwagala kuddiridde Isma Bamuluko ng’ono y’abadde apangisa abantu n’abwatala mu kkanisa ya Kwagala okumuloopa bwe yabadde alina abantu bazze okupangisa. Kwagala okukwatibwa yasangiddwa mu muzigo gw’omukyala amanyiddwa nga Maama Winnie omutuuze mu Ddobi ku Kaleerwe ng’alina abakazi baayogerako nabo.
Bamuluko agamba nti, amaze emyaka ebiri ng’akolagana n’omusumba Kwagala ng’amufunira abantu ku Kaleerwe n’abatwala mu kkanisa y’omusumba beefuule nti balwadde babasabire olwo kkanisa esobole okujjuza ng’abagoberezi balowooza nti awonya.
Ayongerako nti, abantu bano bwe batwalibwa Kwagala asooka kubabuulira kya kukola era okusaba bwe kutandika ng’asonga ku oyo omuntu ng’atandika okumusabira ng’eno bwasambagala oluvannyuma n’alumiriza nga bw’amugobyeko ekirwadde ekibadde kimutawaanya.
‘Baasooka kumpangisa, ne bantwala ne neefuula omulwadde ne bansabira kumbe kyali kiwaani. Kino bwe kyaggwa, musumba yanfuula omukozi we olwo nange ne ntandika okuyigga abantu nga mbaleeta mu kkanisa ne basiba ekiwaani nti balwadde. Naye eky’ewuunyisa ffe abamulumiriza poliisi egaanyi okutujjako obujulizi, ne bamuyimbula mbu talina musango!’
Bamuluko bweyagambye. Abamu ku bakazi Poliisi beyasanze n’omusumba okuli Shamim Namaganda, Jane Nakyanzi bagamba nti, bo baayitiddwa Maama Winnie n’abagamba nti waliwo ddiiru mu Kkanisa e Bulenga eriko ssente ‘Naawe embeera ogiraba kati tubadde tulina okugenda tusobole okufuna ku ssente kati tusaba kisonyiwo†bwe baategeezezza
Sulaiman Kwagala agamba: ‘Nze Omusumba yang’amba nkole nga eyalogebwa muka kitange mbulwe amagezi g’omu kibiina kyokka yali ansuubizza 15,000/- naye ate olwamaliriza yampa 3000/- kale okuva kw’olwo siddangayo’.
Ssentebe wa Ddobi zooni ku Kaleerwe Paul Mukwaya yategeezezza nti kituufu omusumba aludde ng’aggya n’atwala abantu mu kkanisa e Bulenga. Akulira Poliisi y’oku Kaleerwe, Martine Obita yagambye nti Kwagala yayimbuddwa naye ensonga ze ziri ku fayiro SD: 25/26/01/2011. Â
  Â
Omusumba akwatiddwa