TOP

Temulonda mawanga wabula busobozi - Museveni

Added 18th January 2011

Pulezidenti leero atandise kampeyini mu Buganda ng’atandikira mu Bukwiri Primary School mu disitulikiti empya ey’e Kyankwanzi n’oluvannyuma e Kiboga n’e Mityana North.

Nadduli yagambye nti Obuganda bulindiridde okuwulira Pulezidenti ky’ayogera ku bbago ly’etteeka ly’okulongoosa obuk

Pulezidenti leero atandise kampeyini mu Buganda ng’atandikira mu Bukwiri Primary School mu disitulikiti empya ey’e Kyankwanzi n’oluvannyuma e Kiboga n’e Mityana North.

Nadduli yagambye nti Obuganda bulindiridde okuwulira Pulezidenti ky’ayogera ku bbago ly’etteeka ly’okulongoosa obukulembeze bw’ennono, ab’e Kyakwanzi ne Kiboga baagala abongere amasaza bongere ku muwendo gw’ababaka ababakiikirira mu Palamenti.

 Mu lukung’aana lwe yakubye e Kiryandongo Primary School  eggulo ng’akomekkereza kampeyini ze mu Bunyoro, Pulezidenti yakubirizza abantu obutalonda lwa mawanga wabula balonde lwa busobozi.

 Yasiimye Abanyoro olw’okwaniriza ababunzibunzi okuva mu bukiikakkono bwa Uganda n’abanoonyi b’obubudamu okuva e Sudan atwe okwo kwe batadde abasenze okuva e bududa mu Bugisu abaasimattuka ettaka lwe lyabumbulukuka.

“Singa  ab’e Bududa temubasenza, bajja kwonoona olusozi lwaffe ng’ate lusibukako emigga mingi egiriikiriza omugga Kiyira, egisobola okwonoona obutonde bwaffe nga gikalidde, ” bwe yagambye.

  Omuwabuzi wa Pulezidenti ku Buganda, Robert Ssebunnya yategeezezza mu nkung’aana Pulezidenti ze yasembyeyo okukuba mu Bunyoro, nti e Buganda bamwagala  kubanga yazzaawo Obwakabaka .

Omumyuka w’omwogezi wa NRM, Ofwono Opondo yategeezezza nti Pulezidenti asuubirwa okulimbulula byonna ebirimbiddwa ab’oludda oluvuganya naddala aba Ssuubi ku bbago ly’obukulembeze obw’ensikirano n’okumanya  abebibanja bwe bali okuva etteeka ly’ettaka lwe lyalongoosebwamu

“E Kiboga n’e Kyakwanzi baali batundira nnyo ab’ebibanja mu ttaka n’okubagobaganya naye ebyo by’akoma naye katulinde abantu bakyegambire Pulezidenti,” bwatyo bwe yategeezezza.

Temulonda mawanga wabula busobozi - Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...