Agambye nti ab’engeri eno beebo abakozesa amazzi ag’emidumu, abasula obulungi era abatambulira ku koolansi kyokka bwe batuuka mu byalo ne balaga ng’embeera bw’etasoboka n’agamba nti tebaagaliza. Yagambye nti “Njagala musooke kufa ku nyingiza yammwe mu maka kubanga nabo abawoza tuva Kampala tuzze kugyawo NRM si bebali obubi ennyoâ€.
Bino yabitegeezezza mu nkung’aana ze yakubye mu Buliisa ne Busheruka.
Museveni era yazzeemu okutangaaza nti tatundanga ku nnyanja nga bwe bibadde byogerwa n’agamba nti alumirirwa abavubi y’ensonga lwaki asazeewo nabo baganyulwe mu nkola ya NAADS basobole okugula amaato n’obutimba ne yingini.
Yalabudde abavubi b’omu kitundu kino abavuba mu nnynja muttanzige okwewala okukwata obwennyanja obuto nti beefiirizza bokka.
Yagambye nti NRM ekoze ate ekyagenda mu maaso n’okukola era okukasa ekyo enguudo z’omu Bunyoro nazo egenda kuzikuba koolansi.
 naddala ; Hoima –Busheruka,Hoima-Masindi, Hoima-Kibaale-Kagadi ne Fortportal.
Museveni atandika nkya kampeyini mu Buganda