Agera obudde bwe ntera okunnyukirako n’ajja mbu ankimyeko. Ssenga embeera eno empisa bubi nnyo era sigyagala, kyokka bwe mugambako ng’agamba ndabika njagala kwenda kyenva mwegobako. Ssenga omukazi mukolere ki kuba antamye?
Mwana wange mukyala wo alabika takwesiga. Weewala nga nnyo okubeera n’omuntu nga temwesigang’ana. Nze ndowooza nti waliwo ekintu kye yalaba nga y’ensonga lwaki yeeyisa bwati. Oluusi ayinza okuba ng’akwagala nnyo nga ye nsonga lwaki akubeerako nnyo. Naye mukyala wo alina okukimanya nti okukulunda tekuyinza kukugaana kwenda. yogerako naye omubuulire ekituufu nti ekintu kyakola kikuyisa bubi. Era mubuuze lwaki akikola.
Mukyala wange mukalu
Ssenga nnina ekizibu. Mukyala wange talina mazzi gakyama era buli lwe twegatta ng’enda oku amala emikolo ng’obusajja bwange bwonna bujjudde mabwa. nkole ntya kuba omukazi mmwagala.
Swalleh KizzaÂ
bw’olaba ng’omukazi tannaleeta mazzi gakyama tekiba kya magezi kwegatta naye. Kino kiba kitegeeza nti tafunye bwagazi ky’ova olaba ng’ogenda okumaliriza emikolo ng’olina amabwa. tekinyuma kwesanyusa ate n’oleka munno nga ye tasanyuse. Omukyala okubeera omukalu kiva ku bintu bingi. Ayinza okuba nga tafunye bwagazi, mukoowu oba ng’alina ebirowoozo. Abakyala abamu babeera n’ebizibu bingi mu maka nga kye kimuleetera okubulwa amazzi g’ekyama. Abamu baba bwe baatondebwa naye ng’ayinza okufuna eddagala n’atereera. Ensonga eno mulina kugikwata na bwegendereza era omubuuze ekimusumbuwa.
Enkwawa zange ziwunya
Ekizibu kye nnina simanyi oba kinamponako. Enkwawa zange ziwunya buli kiseera. Ne bwemba naakamala okunaaba era ziwunya. nsaba kumpa ku magezi kuba nkoze buli kye mmanyi naye bigaanyi.
Enkwawa okuwunya kiva ku bintu bingi. Waliyo abantu nga balwawo okwemwa ate abalala nga tebeemwera ddala. Kino kye kimu ku bireetera omuntu okunya enkwawa. Buli lw’otomwa nkwawa ate n’otuuyana ebbugumu eryo mwe muva olusu. Ne bwonaaba toyinza kutukula kuba entuuyo zikwatira ku nviiri zino ekikaluubiriza okuziyonja. Ekirala bw’oba onaaba olina okuyisa ekyangwe mu nkwawa bulungi ng’otaddemu ssabbuuni. Bw’oba omaze okunaaba zisiimuule zikale bulungi. Osobola okukozesa n’eddagala erimu omuli ebbombo n’oliteeka mu mazzi g’onaaba buli lunaku. Ekirala weewale okwambala engoye ezitali za pamba kuba nazo zongerako ku kuwunyisa omuntu anti tezisobola kunywa ntuuyo.
Â
Gwe njagala tandiiko
Waliwo omulenzi gwe njagala naye tandiiko ate nga nze mmwagala nnyo. Tukola ffembi naye yakula bulungi, alina empisa era abawala abasinga bamwegwanyiza. Ssenga akimanyi nti abawala bamwagala era abamu bamutuukirira ne bamwatulira naye yeewulira. Olumala okukola emirimu gye ng’agenda era talina gwawa kadde kwogerako naye. Tewali amanyi oba alina omuntu naye ng’okusinziira ku bikolwa alabika talina. Ssenga njagala kuwangula mutima gwe naye simanyi bwe nnyinza kukikola kuba tandiiko.
Bw’oba olaba ng’omulenzi takuliiko lwaki tomwesonyiwa? Mwana wange abasajja abalungi buli mukazi baaba ayagala naye baba bazibu okufuna. Ogambye nti akimanyi nti mulungi era abawala bamwekwanira kale bwe yeewulira tomunenya. olina okukimanya nti abakazi Katonda yabamma obuyinza obwekwanira abasajja. Kyandibadde kirungi n’olinda akwegambire.
Â
Nkole ntya okumwagala nzekka?
Waliwo omusajja gwe njagala naye alina omuwala omulala. Nkole ntya okumwagala nzekka?
Mwana wange okubeera ku musajja ono wekka nga si kyangu. Okusalawo kulina kuba kwa musajja n’alondako ku mwembi ani gw’aba agenda naye.  Omusajja okubeera n’abakazi abasukka mwomu kiva ku bintu bingi. Ayinza okuba nga takwagala bya mukwano wabula ng’akukozesa bukozesa wabula ggwe n’olowooza nti ali mu mukwano naawe. Ekirala ayinza okuba nga tasalangawo ku mwembi ani gw’agenda kulondako afuuke mukyala we. Ekirala abasajja bamanyi okubeera n’abakazi abalala singa gw’aba naye aba tamusanyusa mu by’omukwano.  Kale okuwangula omutima gw’omusajja ono olina okusooka okwetegereza olabe oba nga ddala ggwe gw’ayagala ku mutima.
Omukazi mukolere ki?