TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Okwokya Amasiro lwali lukwe lupange’

‘Okwokya Amasiro lwali lukwe lupange’

Added 20th December 2010

Andrew Kizimula Mubiru omukugu okuva mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga (Senior Government Analyst)  yagambye nti okusinziira ku kunoonyereza n’obujulizi bwe bafunye okuva ku bantu ab’enjawulo omuliro tegwava ku byoto ebiriraanyewo wadde ettaala z’omukono ze baasanga munda, wabul

Andrew Kizimula Mubiru omukugu okuva mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga (Senior Government Analyst)  yagambye nti okusinziira ku kunoonyereza n’obujulizi bwe bafunye okuva ku bantu ab’enjawulo omuliro tegwava ku byoto ebiriraanyewo wadde ettaala z’omukono ze baasanga munda, wabula waliwo omuntu eyagateekera omuliro.

Bino yabitegeezezza akakiiko akasibwawo gavumenti okubuuliriza ekyavaako omuliro ogwayokya Amasiro ago akakulirwa omulamuzi George Engwau.

Kizimula yagambye nti poliisi yalemwa okukuuma ekifo kino nga kyakakwata omuliro ne basanga nga kitataaganyiziddwa abantu nga bayoddemu essubi wabula n’ebigambibwa nti kisoboka okuba nga  ttaala ze zavaako omuliro ze baasanga munda tekisoboka kuba zaali tezaabise so ng’ettaala evuddeko omuliro erina okwabika  olw’amafuta agagibeeramu.

Kizimula okujja waasooseewo bakugu okuva mu kitongole kya UMEME abaakulembeddwa omuzungu Phil Ball avunaanyizibwa ku mutindo n’entambula yamasannyalaze ne bategeeza nti okusinziira nga bwe baasanga eby’amasannyalaze mu kifo kino okuva ku waya egaggya ku muti okutuuka ku mmita, tewali kabonero kalaga nti masannyalaze ge gavaako obuzibu.

 Abaawerekedde Ball kwabaddeko ying. Robert Mubiru ne Munnamateeka wa kkampuni Susana Bukenya. Mubiru yagambye nti bwe baabategeeza nti omuliro gukute  amasannyalaze baagaggyako wabula UMEME evunaanyizibwa ku kuggya masannyalaze ku muti okutuuka ku mmita bwe gaba gaalina buzibu munda ne galeeta omuliro tebavunaanyizibwa.

Munnamateeka Joseph Luzige naye yeewozezzaako n’ategeeza nti ye ng’ava mu kika ekikongojja Kabaka, ekintu kye baamuteekako kinene nnyo kiringa okusalira omuntu omusango gw’okufa nga tekikoma ku kulumya yekka wabula n’abantu b’omu maka ge so n’abamuvuganya mu byobufuzi batanddise okukikozesa kubanga yeesimbawo avuganya ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Mityana.

Omumbowa omukulu Christopher Nalima, Namikka gwe yalumiriza nti ye yamutegeeza ebya Luzige ne Rugunda naye yazze mu kakiiko  n’agambti nti Namikka abadde mukwano gwe naye gwafudde okuva lwe yalebudde gavumenti.

‘Okwokya Amasiro lwali lukwe lupange’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...