TOP

KCC eyongere amaanyi mu kuyonjo ekibuga

Added 20th December 2010

Nsaba abakungu mu KCC abavunaanyizibwa ku kuyonja ekibuga mwongeremu amaanyi.

Kampala ayitiridde obujama olw’abasuubuzi abayiwa ebyamaguzi ku mabbali g’enguudo.

Abayonja ekibuga balina okwongeramu amaanyi waakiri okukola olunaku lwonna okusinga okuyonja ekiro kyokka.

Nsaba abakungu mu KCC abavunaanyizibwa ku kuyonja ekibuga mwongeremu amaanyi.

Kampala ayitiridde obujama olw’abasuubuzi abayiwa ebyamaguzi ku mabbali g’enguudo.

Abayonja ekibuga balina okwongeramu amaanyi waakiri okukola olunaku lwonna okusinga okuyonja ekiro kyokka.

Obuveera bungi era butuuse okuzibikira emifulejje egitambuza amazzi singa tebabukung’aanya.

N’abalimi abaleeta ebirime bangi baleka ebisaaniiko  mu bifo mwe batikkulira ebyamaguzi.

Nsaba abakulira obutale basseewo abantu abavunaanyizibwa okuyonjaawo oba omulimu mugukwasize ddala abalimi abaleeta ebirime baleme kuleka we bakoledde nga wajama.

Kino kiyinza okutuyamba ekibuga kyaffe okulabikako obulungi okusinga kati nga kijjudde ebisaaniiko, ebipapula n’obuveera.

Irene Nambi,
Kawempe.

KCC eyongere amaanyi mu kuyonjo ekibuga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...