TOP

Olubuto si lwange

Added 13th December 2010

Ekyama kino kati mmaze nakyo emyezi mukaaga naye ng’enze okulaba nga mpulira nfa. Mukyala wange mmwagala nnyo naye kino kinzitooweredde! Nkolera Sudan ate omukyala abeera mu Uganda. Ssenga mpa ku buyambi.

OLI mutuufu kuba kino kizitowa! Okoze bulungi okukyogerako kubanga okusigala n’

Ekyama kino kati mmaze nakyo emyezi mukaaga naye ng’enze okulaba nga mpulira nfa. Mukyala wange mmwagala nnyo naye kino kinzitooweredde! Nkolera Sudan ate omukyala abeera mu Uganda. Ssenga mpa ku buyambi.

OLI mutuufu kuba kino kizitowa! Okoze bulungi okukyogerako kubanga okusigala n’obuzito buno kisobola okukuviiramu obulwadde. Okusookera ddala, nsuubira nti ebbanga lye mumala  nga temuli wamu lye lyavaako obuzibu. Omanyi abakyala abamu tebasobola kugumiikiriza na kwesonyiwa bikemo bye basanga ng’abaami baabwe tebaliiwo era bagenda okwekanga nga bafunye embuto ze bateetegekedde. Ate abamu guba muze nga benzi. Kale omukazi omwenzi bba ne bw’aba nga waali era ng’amuwa buli kye yeetaaga era asobola okuzaala omwana ebbali. eky’okuba ng’okolera wala tosaanye okyekwase nnyo. Kyandibadde kya magezi n’oyogera ne mukyala wo ku nsonga eno. Naye okwogera naye olina okuba nga tolina busungu kubanga oyinza okumukolako obulabe. Ogambye mukyala wo okyamwagala naye eky’omwana ono okikola otya? Bw’oba osonyiwa era ne weerabira kikole oluvannyuma muteese naye ku ngeri gye mugenda okukuzaamu omwana ono atali wuwo. Bw’oba tosobola kumusonyiwa wadde okwerabira era ng’osuubira nti obwagazi gy’ali busobola okukendeera, kya magezi omwesonyiwe era kikole mpola mu magezi oba muteese ku kwawukana naye. Ekirala mukyala wo ayinza okuba nga takyalina mukwano gy’oli ng’ayagala oyo eyamufunyisa olubuto.   

Antiisatiisa okunkyawa
Nnina omusajja gwe njagala era tumaze ffembi emyezi etaano. Ekizibu kye nsanze mu bbanga lino, annemeddeko nti ayagala kumpasa. Nkyakigaanyi kuba ndowooza nti sinnamumanya nnyo naye antiisatiisa nti bwe simufumbirwa kati agenda kunkyawa. Sinnaba kwegatta naye kuba tetunnaba kwekebeza musaayi naye nneebuuza lwaki ali mu bwangu nnyo?

Mwana wange oli mutuufu okusooka okugaana obufumbo buno n’okwagala okwekebeza omusaayi. Ennaku zino abantu bangi bayingira  mu bufumbo nga tebeetegerezza bulungi muntu gw’agenda naye ekireetera obufumbo bwabwe obutawangaala.  Omusajja ono ayinza okuba ng’alina ensonga gy’akweka nga tayagala mulwewo kuba oyinza okugimanya. Abamu bakola kino nga balwadde n’ayagala akuwase mangu ogende okumanya nga tokyayinza kuva mu bufumbo buno. Bw’aba nga ddala akwagala tasobola kukuleka era bw’akikola manya nti abadde alina ekikyamu ky’akweka.

tayagala nkwate ssimu
Waliwo omusajja gwe njagala ate naye anjagala naye olumu ansobera. Bwe tuba naye omuntu omulala n’ankubira essimu ng’ayomba. Ate naye bw’ankubira nga nnina gwe njogera naye ku ssimu era nakyo kimutabula. Ssenga omusajja ono mmukolere ki?

Omwami wo ng’alina ebbuba lingi? Kano kabonero kabi kuba kalaga nti  takwesiga. Ekirala lwaki alowooza nti y’alina okukukubira essimu yekka? Alina okukimanya nti waliwo abantu abalala b’olina okuwuliziganya nabo. Enkola eno nkyamu nnyo era terina kubeera mu mukwano. Buli lw’olunda munno ng’embuzi nga tomuwa kadde kwetaaya kiyinza okubazaalira emize  ng’obwenzi kuba yeetaasa asobole okufuna ku mirembe. Abasajja n’abakazi abalina enkola eno obufumbo bwabwe tebutera kuwangaala kuba buli kiseera baba balowooza baganzi baabwe bali mu bwenzi. Yogera naye omusabe atandike okukwesiga nga ggwe bw’okola.

Olubuto si lwange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.