TOP

Meeya w’e Lugazi gamumyuse

Added 6th December 2010

Deo Tumwesigye omu ku bavuganya ku bwameeya agamba nti ekibuga kiddiridde olw’abakulembeze okubulankanya ssente.

Mu lukung’aana omwabadde abantu abawerera ddala yagambye nti Town Council yalina obukadde 50 ez’okugulira abantu tulakita okukulaakulanya ebyobulimi wabula meeya Asea yaz

Deo Tumwesigye omu ku bavuganya ku bwameeya agamba nti ekibuga kiddiridde olw’abakulembeze okubulankanya ssente.

Mu lukung’aana omwabadde abantu abawerera ddala yagambye nti Town Council yalina obukadde 50 ez’okugulira abantu tulakita okukulaakulanya ebyobulimi wabula meeya Asea yazikozesa ku ng’endo ze okugenda mu Bulaaya.

Yalaze obwennyamivu bw’ebbula ly’emirimu eri abavubuka n’abakyala ne balemwa n’okubafunira entandikwa. Yasuubizza nti ebyo byonna bijja kufumwa singa bamulonda ku bwameeya.

Meeya JB Asea afukaamiridde abalonzi n’abasaba bamuwagire nga basinziira ku nkyukakyuka z’aleese mu kaseera akatono k’abadde mu ofiisi.

Yalaze nga balongoosezza enguudo n’okuzituuma amannya, okufuna ettaka okuziikibwa abantu n’okumaliriza ekizimbe okuli ofiisi z'ekibuga n'okuwaayo ofiisi y'omwami wa Kabaka

Mpiima Muzeeyi akutte bendera ya NRM asuubirwa okutongoza kampeyini ekiseera kyonna.
                                                Â

Meeya w’e Lugazi gamumyuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...