TOP

Nnawasa embeerera

Added 22nd November 2010

Ssenga omuwala ono mmukolere ki ng’ate mmwagala?

SIMANYI lwaki abazadde baamukuwa nga tebamubuuliridde. nsuubira bamanyi nti mukyala wo. Oba omuwala atya okwegatta nga yeekwasa mbaga? Mwana wange omuwala ono alabika alina ensonga ye era olina okwogera naye. Ayinza okuba ng’atya okwegatta oba

Ssenga omuwala ono mmukolere ki ng’ate mmwagala?

SIMANYI lwaki abazadde baamukuwa nga tebamubuuliridde. nsuubira bamanyi nti mukyala wo. Oba omuwala atya okwegatta nga yeekwasa mbaga? Mwana wange omuwala ono alabika alina ensonga ye era olina okwogera naye. Ayinza okuba ng’atya okwegatta oba ng’abazadde baamugamba nti alina okwegatta ng’afumbiddwa.

Tukozese sitayiro ki?
OMUSAJJA wange muwanvu nnyo era mmukoma mu kiwato. Obuzibu we buva nti bwe tuba twegatta sinyumirwa kubanga abulwa engeri gyankwatamu olwa sayizi ye. Ssenga tuyambe ku nsonga eno.
Mariam -Kampala.

NSUUBIRA mukozesa sitayiro emu nga mwegatta gye bayita “missionary” ng’omusajja y’ali waggulu.  Sitayiro eno tesobola kukunyumira nnadala ng’omu ku mmwe muwanvu nnyo. Waliyo obutabo obusomesa sitayiro ezenjawulo, mubusome bujja kubayamba.

Nfune annamalako ennyonta?
Ssenga mukazi wange yafuna olubuto n’akyawa okwegatta nange kyokka nga ndi mu bwetaavu bungi.  Nfune omukazi omulala anammalako ennyonta ya laavu? Ssaagala akimanye kuba nkimanyi nti anjagala. Nkole ntya?
Makanga e Busaabala

ABAKYALA bwe bafuna embuto bafuna enkyukakyuka nnyingi mu mubiri.   abamu bakyawa okwegatta ate abalala baba  baagala nnyo okwegatta wadde nga n’abamu tebakyukako. Mukyala wo ayinza okuba ng’embeera eno y’emuleetera okuba bw’ati. Ogambye oyagala kufuna mukyala mulala olw’obwetaavu naye tokikola mwana wange. Bw’oba omufumbo olina okuyiga obugumiikiriza era embeera ey’obwenzi eyonoona amaka. guma, munno ajja kudda mu mbeera.

Eyandekawo ayagala kudda
Nnina omuwala gwe twagalanye naye okumala ebbanga ddene. Ekiseera kyonna ekyasooka yali yagaana okujja ewange ng’agamba nti mmala kumusasula. Nanoonya ssente ne mmusasula wabula waayita omwezi gumu n’agenda ewaabwe. Nakanda kumulinda nga tadda era ng’enda okuwulira nti yafumbirwa awalala. Kati wayise akaseera wabula anneegayirira mbu ayagala kukomawo wange era mmusonyiwe byonna ebyatuukawo. Ssenga, nze mpulira nga namukoowa naye anneesibyeko. Nkole ntya?

Mwana wange njagala okumanya, wasasula bintu ki? Wakyala waabwe oba wamwanjula? Ennaku zino abawala bafuula abasajja bbanka ne babanyaga. Omuwala ono yali muyaaye ate naawe wakola bubi okumusasula nga tomaze kwebuuza bituufu bimukwatako. Alabika yalina omusajja omulala gwe yalowooza nti y’asinga kati bimaze okumwefuulira ayagala kudda wuwo. Kyandibadde kyamagezi n’omwesonyiyira ddala kuba tomanyi  gy’abadde atambulira ajja na kukusiiga obulwadde!

mukazi  wange asusse obwenzi
NKOLA safaali era tumaze ne mukyala wange emyaka kkumi. wabula emyaka esatu emabega yatandika  obwenzi. Nasalawo okumwesonyiwa era ne nsenguka mu kisenge. Omukyala ono akyaza abasajja mu nju yange era abaana be bang’amba buli lwe nkomawo. Lumu namugambako n’ang’amba nti akikola kunnumya. Omukyala mmugobe nsigaze abaana bange?
Baker - Makindye

ONO omukyala nga mujoozi bulala! N’ekirala, ggwe tolaba ng’abaana bo aboonoona? Newankubadde amaka gammwe naye, mu butuufu ky’akola kibi nnyo. Wamulekawo alabirire abaana be sso si kuboonoona. Ate naawe oli mugonvu nnyo. Lwaki akujooga atyo mu maka go? Oli musajja era olina okukozesa obuyinza bwo n’omugaana okuleeta abasajja mu nju. Ggw’olina okusalawo, naye ndaba kya magezi akumuviire olabirire abaana bo kuba ajja kukuleetera obulwadde.

Omuwala yannimba
Waliwo omuwala gwe mbadde njagala wabula mu kusooka yankisa nga bw’atalina musajja kyokka nakizudde nga mufumbo. Ssenga nkole ntya kuba andaga nti anjagala?

okusookera ddala, munno ekintu kye yakola eky’okukukisa tekyali kirungi era kiraga ebintu bingi. Kiyinza okulaga nti munno si mwesigwa gy’oli oba nti mwenzi kuba ogambye nti wakizuula nga mufumbo.  Sigaanyi, waliwo ebyama abantu bye bakukulira naye kino kiba kinene okusirikira. Kati nga bw’otegedde nti mufumbo, osaanye omwekutuleko nga bukyali kuba ayinza okukuleetera ebizibu. Ekirala, yogera naye amanye nti wamutegedde era omubuuze lwaki yakulimba kuba ayinza okuba ng’alina kyakwetaaza.

Nnawasa embeerera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...