TOP

Lukwago akyesimbye mu Sematimba

Added 15th November 2010

“Mbyetegerezza  tebikakasibwanga kakiiko ka Byanjigiriza (National Council for Higher Education). Ssematimba agenda kusazibwamu nga kkooti bwe yakola Abdul Nadduli ow’e Luweero ”, Lukwago bwe yagambye.

Yategeezezza nti obujulizi bw’alina bukwatagana ne bye yalabye ku  fayiro y’obuyigi

“Mbyetegerezza  tebikakasibwanga kakiiko ka Byanjigiriza (National Council for Higher Education). Ssematimba agenda kusazibwamu nga kkooti bwe yakola Abdul Nadduli ow’e Luweero ”, Lukwago bwe yagambye.

Yategeezezza nti obujulizi bw’alina bukwatagana ne bye yalabye ku  fayiro y’obuyigirize bwa  Ssematimba eriko ebbaluwa ya siniya eyokuna gye yafuna e Kings College   Buddo mu 1978 ne Dipuloma .

“Kyokka Dipuloma mu byeddiini, Ssematimba  yagikolera mu Amerika mu ttendekero lya International College of Excellency mu 1988.

Ebbaluwa  teraga bbanga lye yamala ng’asoma dipuloma era akakiiko k’Ebyenjigiriza tekannaba kukakasa ttendekero lino oba ebbaluwa eyo yenkanankana ne S6”,  Lukwago bwe yagambye.

N’agamba nti mu 2006,  akakiiko k’ebyenjigiriza kakkiriza Ssematimba okwewandiisa nga tekeebuuzizza ku UNEB. Ssematimba  yalina okuddayo afune ebbaluwa mu UNEB ekakasa empapula ze. Ekyo teyakikola ekitegeeza nti yawandiisibwa mu bukyamu.

Kwe kujuliza omusango  Ronald Ndawula gwe yawaabira  Nadduli ne gusalibwa omulamuzi Kagaba.

Nadduli empapula ze zaali tezisoose kukakasibwa UNEB, nga bwe yasalawo okuzireeta oluvannyuma kyali tekiyamba bwatyo yasazibwamu.

Ne  Ssematimba kati ne bw’aleeta ebiwandiiko  takkirizibwa kuvuganya mu mateeka.

Amateeka galagira omuntu yenna ayagala okwesimbawo okutwala empapula z’obuyigirize zisooke kukakasibwa kakiiko k’ebyenjigiriza alyoke awandiisibwe.

Bukedde teyasobodde kwogera ne Ssematimba mu kiseera kino ali mu Amerika.

 Omwogezi wa Ssematimba, Andrew Benon Kibuuka yagambye nti omuntu we alina empapula z’obuyigirize ezeetaagisa wabula Lukwago agenderera kumusiiga nziro.

Abantu mukaaga abavuganya ku bwameeya, kuliko  Ssematimba, Lukwago, Michael Mabikke, Emmanuel Tumusiime, Francis Babu ne Ssandra K. Ngabo.

Lukwago akyesimbye mu Sematimba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobugaali nga bawummuddemu.

Aboobugaali banoonya obukad...

Ttiimu eno emaze wiiki ssatu mu nkambi e Kabaale gyebadde etendekebwa nga wiikendi eno lw’erina okusitula okwolekera...

Abooluganda nga bakutte ekifaananyi kya Ddamulira.

Bawunze bwe bakabatemye ku ...

ABOOLUGANDA ly'omusuubuzi wa Kisekka, John Ddamulira eyawambibwa emyezi etaano emabega baweddemu essuubi gavumenti...

Abazimyamoto nga bazikiriza omuliro.

Akasattiro! Essomero likutt...

Wabaddewo akasattiro e Namungoona ku ssomero lya Golden Junior School, ebisulo by'abayizi bwe bikutte omuliro ebintu...

RCC wa Kawempe,  Dauda Kato ng'akwasa omu ku baserikale ebbaluwa, abalala nabo baasiimiddwa.

Abaserikale ba Reserve Forc...

RCC wa Kawempe omuggya Dauda Kato akubirizza abaserikale b'eggye  ezzibizi okutwala mu maaso empisa  ennungi ze...

Achen nga yaakamala okulongoosebwa essasi mu kabina mu ddwaaliro e Mulago.

Omusuubuzi eyakubwa essasi ...

OMUSUUBUZI eyakubwa essasi ne liwagamira  mu kabina alongooseddwa ne balimuggyamu. Harriet Achen 37 omusuubuzi...