TOP

Abaasimattuka Kazawula boogedde

Added 21st October 2010

Stephen Sserunkuuma akolera ku siteegi y’e Wandegeya: Bansibira mu kibira e Ssentema ne batwala emmotoka. Mbeera Kyebando naye abasajja babiri baanzigya ku siteegi y’e Wandegeya mu August wa 2007 nga nnali nvuga Toyota Corsa UAH 174U nga baagala kubatwala Lugala ku ssaawa 8:00 ez’ekiro.
<

Stephen Sserunkuuma akolera ku siteegi y’e Wandegeya: Bansibira mu kibira e Ssentema ne batwala emmotoka. Mbeera Kyebando naye abasajja babiri baanzigya ku siteegi y’e Wandegeya mu August wa 2007 nga nnali nvuga Toyota Corsa UAH 174U nga baagala kubatwala Lugala ku ssaawa 8:00 ez’ekiro.

Nnakkiriza kyokka bwe twatuuka e Lugala eyali atudde emabega n’annyimbamu omugwa mu bulago.Nagezaako okubalwanyisa naye   ng’omugwa gunywezezza era bwe naggwamu amaanyi ne bansiba emiguwa emikono n’amagulu ne bavuga mmotoka ne bantwala ku luguudo lwa Ssentema okuliraana enkulungo ya Northern Bypass ne bansiba ku muti mu kibira.

Agamba nti yatandika okwesumulula mpola mu matumbibudde n’ava mu kibira n’addukira awaali wasula ebyuma by’abakola oluguudo lwa Northern Bypass abaamuyamba okumutwala ku poliisi e Lugala. Mmotoka ye teyaddamu kugirabako.

Abbas Kasule naye akolera ku siteegi y’e Wandegeya agamba nti mu October wa 2008 ababbi baamupangisa  nga baagala abatwale e Kabalagala. Bwe twatuuka ku Supermarket emu omu yang’amba tukyame nti yali anona mukazi we balinako gye balaga. Kyokka bwe baatuuka ku kikomera ekimu n’ayingira kyokka oluvannyuma wavaayo abasajja babiri nga balina emmundu.

Banzigyako ebisumuluzo bya mmotoka ne bantambuza ekiro kyonna okutuuka lwe bansuula e Kansanga mmotoka yange Corona 100 ne bagitwala. Natwala omusango ku poliisi e Kabalagala kyokka bbo baasalawo kusiba nze wiiki nnamba.

Edriisa Ntamu baamupangisa ku siteegi e Wandegeya ne bamusibira mu kibira e Ssemuto. Agamba nti omusajja yaggya n’omukazi ng’akaaba amaziga ne bamutegeeza ng’omukazi bw’afiiriddwa kitaawe era bagenda Nansana.

“Zaali ssaawa 3:00 ez’ekiro nga 27/08/2007,era bwe twatuuka mu kkubo omusajja n’abaako abantu baakubira essimu ng’abagamba bamuleetere obutto obwezizikwa ne bulangiti,” bw’annyonnyola.

Agamba nti bwe baatuuka e Namungoona omukazi be yatuma bulangiti baayingira ne bamugamba abatwale e Wakiso bamuwe 50,000/- kyokka bwe baatuuka mu kkubo ne bamusaba ayimirire bamale okwetaawuluzaako.

“Olwali okuvaamu ne bannefuulira,baggyayo basitoola ne bang’amba nneme kukuba nduulu. Olwo baali baweze nga beegattiddwako abavubuka abalala babiri abaali baleese bulangiti,” bw’alombojja.

Ntamu agamba nti baamuvuga nga bamusibye emiguwa ne bamutwala mu kibira e Semuto ne bamusibira eyo era abasalamala be baamulaba ku makya ne bamusumulula n’addukira ku poliisi e Matugga gye yatwala omusango gwe. Kyokka agamba nti oluvannyuma mmotoka eno Corona 100 UAE 430E yagisanga Nakulabye nga gye bagisudde.

Abdul Kalwanyi baamupangisa ku siteegi ya Kaleerwe ku ludda ku lwa Mawanda Road ne bamusuula mu bikajjo e Lugazi. Obudde bwali misana ttuku mu mwaka gwa 2008 omusajja eyagamba nti yali ayagala okumutwalira omupiira gwa ttulakita e Seeta ng’aguggya ku luguudo lwa Nabugabo ye yamupangisa.

 “Bwe tutuuka ku Nabugabo yang’amba tewali mipiira n’asalawo okunnyongera ssente tugende e Lugazi. Tuba tutuuka wakati mu bikajjo ne tusanga omusajja era n’angamba nnyimirire nti oyo gwe yali ayagala okumuguza omupiira,” bw’attottola.

Agamba nti bwe yayimirira ne wafubutukayo abasajja babiri mu bikajjo nga bakutte emmundu ne bamusiba ne bamuvuga okukkakkana nga bamusudde wakati mu bikajjo.
Kalwanyi agamba nti baamusuula mu bikajjo ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ne bamuzuula enkeera ng’ali ku miguwa era omusango yagutwala ku poliisi e Lugazi.

Issa Kizito baamupangisa e Wandegeya w’akolera  ku ssaawa 7 ez’ekiro baagezaako okumutugisa omugwa kyokka n’abasinza amaanyi. Agamba nti nga November 29 omwaka oguwedde yapangisibwa abasajja babiri okuva ku siteegi e Wandegeya abaamugamba nti batwalira kitaabwe bintu byakukozesa waka.

“Tuba tutuuka ku wooteeri ya Africana omusajja omu n’annyambika omugwa mu bulago. Nnatandika okulwanagana nabo okutuuka omu bwe yadduka. Eyasigalawo abapoliisi baamukwata ne bamutwala ku RRU kyokka oluvannyuma ne bamuyimbula,” bw’annyonnyola.

Kizito agamba nti yatya okwongerayo omusango oluvannyuma lw’okumuddiza mmotoka ye ate n’akitegeera nti omu ku baali baagala okumutta bamuyimbudde.
Â

Abaasimattuka Kazawula boogedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?