TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo ereese kaadi y’abali ku ttaka lya Kabaka

Mmengo ereese kaadi y’abali ku ttaka lya Kabaka

Added 6th October 2010

“Enkola ey’okussa ebikwata ku byapa by’abantu tugireese okutangira abantu okutambula n’ebyapa mu nsawo ekibadde kiviiriddeko bangi okubabulako ne balifiirwa,”  bwatyo omumyuka w’akulira ekitongole kino Stephen Kituuka bweyagambye.

Mu kiseera ky’ekimu baalangiridde nga bwe wassiddwa

“Enkola ey’okussa ebikwata ku byapa by’abantu tugireese okutangira abantu okutambula n’ebyapa mu nsawo ekibadde kiviiriddeko bangi okubabulako ne balifiirwa,”  bwatyo omumyuka w’akulira ekitongole kino Stephen Kituuka bweyagambye.

Mu kiseera ky’ekimu baalangiridde nga bwe wassiddwaawo enkola abantu abali ku ttaka lya Kabaka erya ma

yiro 350 mwe bagenda okutandika okwewola ensimbi mu bbanka nga bakozesa ebiwandiiko ebibaweebwa ekitongole kya BLB oluvannyuma lw’okwewandiisa nakyo.

Bino Kituuka abadde n’abakungu abalala okuli Kyewalabye Male omuwandiisi wa BLB, Munnamateeka waabwe Lilian Kaddu, Bashil Kizito avunanyizibwa ku bya liizi n’abalala bino baabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde mu ofiisi z’ekitongole kino ku Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

Ezimu ku bbanka ezaanokoddwaayo ezimaze okukwatagana n’e BLB kuliko Centenary Bank  ne Mednet nga n’endala zisuubirwav okugyegattako akadde konna.

Kyewalabye bwe yabadde ayogera yategeezezza nti newankubadde Obwakabaka bwa Buganda bukola okukuuma ettaka ly’abantu nga kw’otadde n’okukakasa nti ebirikwatako bissibwa mu kompyuta,  ekitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku ttaka kisaana okwongera amaanyi mu kulwanyisa enguzi n’okukyusa ebyapa by’abantu mu bukyamu era kyongere n’obukuumi nti kuba kirina obusobozi obumala.

“Ffe ne bwetukola ennyo tetulina busobozi bumala kutuukiriza bigendererwa byaffe n’olwekyo gavumenti esaana nayo okwongera amaanyi mu kitongole kyayo” kyewalabye bwe yagambye n’ategeeza nga bwe baliko n’enteekateeka ey’emyaka etaano gye bakoze gye bayise ‘Strategy and Cooperation Plan egenda okutunuulira okulongoosa obutale bwa Kabaka n’okulongoosa ebintu Buganda Land Board by’ebadde ekola kyokka nga tebituukana na mutindo.

Mmengo ereese kaadi y’abali ku ttaka lya Kabaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...