TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi baggaddewo ekizimbe kya Kizito Towers

Abasuubuzi baggaddewo ekizimbe kya Kizito Towers

Added 6th October 2010

Bagamba nti yabawadde amabaluwa agabalagira okusasula emiwendo gy’amasannyalaze emipya kubanga ekitongole kya UMEME kibabanja ssente nyingi kyokka bo nga bagamba nti baamusasula dda.

“Nze namusasula 40,000/- n’asigala ng’amanja 5,000/- kyokka ampeerezza ebbaluwa nti nsasule 337,000/- ze s

Bagamba nti yabawadde amabaluwa agabalagira okusasula emiwendo gy’amasannyalaze emipya kubanga ekitongole kya UMEME kibabanja ssente nyingi kyokka bo nga bagamba nti baamusasula dda.

“Nze namusasula 40,000/- n’asigala ng’amanja 5,000/- kyokka ampeerezza ebbaluwa nti nsasule 337,000/- ze simanyi ddi lwe nazikozesa?,” omusuubuzi Silver Mukisa bwe yeebuuzizza.

Ate Samuel Kiranda ne Bob Habib baagambye nti buli dduuka yaliwa mita kwerisasulira era babadde basasula bulungi kyokka ng’omugagga y’atazituusa mu UMEME nga bwe baamuweerezza biiru y’obukadde omwenda nabo n’abongeza.

Emiwendo gy’amasannyalaze gye yagerekedde abasuubuzi gitandikira ku 80,000/- okutuuka 340,000/-.

Kyokka omugagga Kizito yategeezezza nti aba UMEME balina miita eyali ebala obulungi gye baatwala kati zino eziriwo tezibala bulungi.

“Bampeerezza biiru y’amasannyalaze ya bukadde mwenda  abasuubuzi ze baakozesa bennyini era nze sisobola kuzibasasulira, ” Kizito bwe yagambye.

Yagasseeko nti ye tagenda kwegayirira muntu yenna yakozesa masannyalaze ge, ng’atasobola kusasula anoonye ekifo ekirala w’akolera.

Abasuubuzi baggyeyo olukalala kwebabadde basasulira amasannyalaze ng’abasinga bagamba nti baasasula dda ssente z’omwezi oguwedde.

Baagenze mu UMEME ne bafunayo ebiwandiiko ebiraga nti buli yuniti abadde abaggyako 520/- ate ye nga bagimusasuza  434/-  gye baagambye nti wadde ntono naye abadde tazisasula.

 


 Beemulugunyizza nti omugagga tabayambye kuba amasannyalaze gali ku buseere, kaabuyonjo zaayononeka so nga bamusasula ssente nnyingi.

Abasuubuzi baggaddewo ekizimbe kya Kizito Towers

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.