Abaalondeddwa     mu ggombolola ya Kampala Central ye: ssentebe Kiviiri Kanyike, omumyuka we Patrick Mwanje, John Sseppuuya muwandiisi n’abalala okuli Richard Ssenabulya, Joseph Lusiba, Godfrey Kasozi, Mustafa Kafeero, Badru Ssenkayi, Charles Mukasa ne Sowed Ssemakadde.
Mu Ggombolola y’e Lubaga ewaabadde olutalo baalonze Kalid Bogere ku bwassentebe, Robert Ssemakula mumyuka, Moses Tumuhaise ye mu-wanika, Thomas Kasozi, Kizza Kyanjo Mayambala, Japhali Ssemugera ne Francis Rwanyaga bammemba ku kakiiko.
Mu Makindye baalonze John Ssemujju (ssentebe), Ismail Kalanzi mumyuka, Awusi Mukwaya muwandiisi ne Wilson Ssembatya muwanika. Abalala ye: Faruok Nkonge, Abdul Kiyemba, Mohammed Kamoga, Badru Ssimbwa, Vianne Nteza ne Ali Ssendagire.
Kyokka nga tebannalonda, ekiwayi ekyabadde kitawagira kulonda kyazinze ebifo we baategese okulondera ne kiragira okulonda kuyimirire.
 Abaategese okulonda baabigaanyi, era awo olutalo we lwatandikidde. Lwabadde ku ofiisi za bodaboda e Nateete era baakubaganye bubi nnyo nga bakozesa kkufulu z’eggaali ze baabadde beesibye mu biwato ng’emisipi okubuzaabuza poliisi.
 Poliisi yabalese ne bakubagana okutuusa abaabadde balemesezza okulonda bwe badduse okulonda ne kugenda mu maaso.
Okulonda kwakubiriziddwa abaali abakulembeze ba bodaboda mu Kampala nga bakulirwa Stephen Kirumira.
 Mu Ggombolola y’e Nakawa ne Kawempe okulonda tekwabaddeyo olw’okuba bbo baabadde tebeetegese. Kati ababodaboda mu buli Ggombolola balina enkiiko bbiri ng’olumu luwagirwa ba RDC ate olulala nga luwagirwa KCC.
Abavuga bodaboda balwanye mu kulonda