Mulina okumanya nti bw’oba wasalawo okubeera ne munno mulina okuteesa. Bw’aba alina kyakunyiizizza oba nga mufunye obutategeeragana mugezeeko okubigonjoola mutere muddemu okukwatagana. Musobola okufunayo abantu babayambe okuddamu okutegeeragana mmwe bwe muba mulemeddwa.
Enkola ey’okusalawo okwefunira omusajja omulala okulumya omwami wo kuba naye alina omukazi omulala byongera kubaleetera buzibu. Eyo gye muwakulira endwadde ez’ekikaba.
Mulina okutegekera abaana bammwe. Singa mudda mu bwenzi abaana mujja kubaleka bubi.
Muyinza okulowooza nti bwe mufuna abasajja oba abakazi ab’ebbali mwewonya bizibu ekyo si kituufu. Ate ebizibu byeyongera kuba wabaawo gw’onyiiza buli kiseera.
Fred Kayanja, Nateete.
Abafumbo mube beesimbu