TOP

Abawagizi bookezza emmotoka y’omubaka

Added 13th September 2010

Kino kyaddiridde poliisi  ekkakkanya obujagalalo okukuba amasasi mu bawagizi ba Mw. Stephen Mayende Deede abaabadde bayisa ebivvulu olw’omuntu waabwe okuwangula akamyufu ka NRM ku kifo kya MP owa Bukooli South.

Twahiru Kakaire, 35,  makanika w’obugaali mu kibuga ky’e Namayingo ye yakubidw

Kino kyaddiridde poliisi  ekkakkanya obujagalalo okukuba amasasi mu bawagizi ba Mw. Stephen Mayende Deede abaabadde bayisa ebivvulu olw’omuntu waabwe okuwangula akamyufu ka NRM ku kifo kya MP owa Bukooli South.

Twahiru Kakaire, 35,  makanika w’obugaali mu kibuga ky’e Namayingo ye yakubidwa amasasi mu kifuba agaamuttiddewo.

Abawagizi olwalabye nga munnaabwe afudde,  baatabuse ne balumba omuserikale eyamukubye nga baagala okumuganjambula kyokka n’addukira ku poliisi y’e Namayingo. Baamuwondedde ku poliisi gye baasanze emmotoka y’omubaka Peter Patrick Ochieng eyawanguddwa mu kamyufu era eno gye baamaliddeko ekiruyi bwe basazeewo okugiteekera omuliro mu maaso ga poliisi mwennyini.

Aduumira Poliisi mu disitulikiti eno eya Namayingo, Mw. Ben Okea yagambye nti tebaasobodde kutaasa mmotoka ku kibinja ky’abantu abaabadde abangi nga tebasalikako musale kuba basajja be baabadde batano ate nga bakoowu oluvannyuma lw’okumala ebbanga eddene nga bali mu byokulonda. Mmotoka yabadde ya kika kya Pajero  UAL 119S  .

Okea yagasseeko nti abantu baasooka kwagala kutuusa bulabe ku yakulira okulonda Mw. David Otabong nga bagamba yali yalwawo okulangirira ebyali bivudde mu kulonda okwaliwo nga September 9 kyokka ne bamuwa obukuumi ku poliisi gye yalangiririra omuwanguzi.

Oluvannyuma olutalo lw’abawagizi ba Ochieng n’aba Deede lwabaluseewo ne bakubagana emiggo.

Deede yawangudde n’obululu 16,667 ate Ochieng n’afuna obululu 13,951. Omugenzi Kakaire yalese namwandu omu n’abaana 8.

 

Abawagizi bookezza emmotoka y’omubaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....