TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Etterekero ly’ebitabo erya KCC litumbudde eby’ensoma

Etterekero ly’ebitabo erya KCC litumbudde eby’ensoma

Added 12th September 2010

Etterekero lino ligenda kuba n’ettundubaali mwe banaasomeseza obukulu bw’okusoma ebitabo n’okubitunda okutuusa wiiki lw’eneggwaako. Basikiriza abantu bonna naddala abaana abato okuyiga okusoma n’okwogera mu lujjudde.

Amyuka akulira etterekero lino, Davis Mucwampaka agamba nti etterekero

Etterekero lino ligenda kuba n’ettundubaali mwe banaasomeseza obukulu bw’okusoma ebitabo n’okubitunda okutuusa wiiki lw’eneggwaako. Basikiriza abantu bonna naddala abaana abato okuyiga okusoma n’okwogera mu lujjudde.

Amyuka akulira etterekero lino, Davis Mucwampaka agamba nti etterekero lyabwe lyatandikawo mu  1953 nga lisangibwa ku kitebe kya KCC mu Kampala okuliriraana Palamenti.

Ebimu ku bigendererwa kwe kulaba nga lifuuka etterekero erikulembera gonna mu ggwanga era kino baakituukako dda. Etterekero lino likung’aanya ebitabo ne libitereka n’obwegendereza okusobola okubikuuma olwo Bannayuganda basobole okubiganyulwamu nga babisoma.

Ebimu ku bigendererwa by’etterekero lino kwe kulaba nga likubiriza abayizi  okusoma ebitabo bwe bataba ku ssomero.

Lifuba okusikiriza abayizi okusoma mu luwummula oba nga bavudde ku ssomero nga bazze eka.
Okwongera okwagazisa abaana n’abantu abakulu okusoma ebitabo n’okubalaga obukulu obuli mu kusoma ebitabo. Okukwatagana obulungi n’abasomi, ababikuba n’ababiwandiika n’amasomero okusobola okwongera mu bantu omutima ogusoma ebitabo.
 
Okufuna obwammemba
Mu tterekero lya KCC ery’olukale, buli muntu ow’ekika kyonna ayanirizibwa okufuna obwammemba, kisoboka buli lunaku, wiiki, omwezi oba omwaka ku bisale ebya wansi ddala.

Bammemba abali ku koosi ez’ekikugu basasula 55,000/- buli mwaka, abayizi ba yunivasite  n’amatendekero aga waggulu basasula 45,000/- omwaka, abayizi aba S.4 ne S.6 basasula 30,000/- , bammemba ab’omwezi basasula 17,000/-, abayizi mu luwummula basasula 12,000/- ate buli lunaku 1,500/-.

Mucwampaka agamba nti, “Mu ttendekero lyaffe omuntu asobola okufuna ebitabo ebikwata ku bintu eby’enjawulo okugeza ebyobufuzi, ebikwata ku siriimu, okulonda n’ebirala.

Mu ngeri y’emu twazika ebitabo eri bammemba abatasobola kusomera ku tterekero, kyokka era tulina ekisenge ekisirifu obulungi abantu bonna we basobola okusomera  ebitabo nga tewali kibatawaanya.”

Omwaka 2012 we gunaatuukira ng’etterekero lino lirina yintaneeti esobola okuyamba ku bammemba baalyo, okubangula abasomesa 20 ku 100 okuva mu masomero ag’enjawulo mu Kampala ku bikwata ku bya tterekero ly’ebitabo n’ebirala.
 

Etterekero ly’ebitabo erya KCC litumbudde eby’ensoma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...