TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana wa famire gye baawadde obutwa omulala afudde

Omwana wa famire gye baawadde obutwa omulala afudde

Added 13th April 2019

OMWANA omulala owa famire gye baawadde obutwa afudde ate nga nnyina ne mukulu we baliko kikuba mukono.

 Namubiru ng’asitudde Nampiima eyafudde eggulo.

Namubiru ng’asitudde Nampiima eyafudde eggulo.

Okusinzira ku mikutu gya Yintaneti, ssente za Ezra ezisinga azifunye Congo gy’alina ddiiru mu kusima zaabu n’eby’obugagga eby’omu ttaka ng’akolagana n’amakampuni g’omu China ne Burawabu. Kigambibwa nti yatuukirira Pulezidenti Kabila n’amuyunga ku makampuni agasima amafuta. Ddiiru ze ezisinga zeekuusa ku kuyunga bagagga, ku mawanga n’amakampuni gye bayinza okugula emigabo n’okukola bizinensi endala.

Ate ayamba gavumenti ezimu okugula ebyokulwanyisa okuva mu mawanga nga Russia ne Korea. E Dubai, Ezra w’asinziira okukwanaganya bizinensi ze ng’akolagana n’abagagga mu Amerika, Germany, Spain, China, Hong Kong, South Afrika.

Kkampuni ye esinga obunene eyitibwa Ezra Global TV (EGT) LLC gye yawandiisi mu Amerika kyokka ng’erina amatabi mu mawanga agenjawulo. Ng’ayita mu kkampuni eno, Ezra alina ddiiru gye yakutula mu 2009 nga ya bukadde bwa ddoola butaano n’emitwalo 60 (eza Uganda obuwumbi nga 12).

Ng’oggyeko ebyamafuta n’okusima ebyobugagga mu ttaka, Ezra yeenyigira mu kukwanaganya okutunda ebyekuusa ku yintaneti, ebyempuliziganya okuli okuyunga abakulembeze ne boogerera mu nkung’aana ennene nga basinziira mu mawanga gaabwe; ebya ttivvi ne vidiyo.

Bizinensi ezisinga , Ezra z’afunamu ssente tazeenyigiramu butereevu wabula ye kayungirizi ayunga abagagga abalina kkampuni entongole ye ne bamuwa enjawulo. Mu Uganda, kigambibwa nti w’atera okusinziira okukwanaganya ddiiru ze mu Congo era bwe zikutuka ng’addayo e Dubai. Bw’ajja mu Uganda emirimu gye atera kugiddukanyiza mu woteeri ez’ebbeeyi okuli Sheraton ne Emin Pasha e Nakasero.

Wadde alina ssente, kyokka n’abamubanja bangi okuli n’omugagga w’omu Amerika amulumiriza nti yamuyisaawo. Mu Sheraton gye yapangisanga ebisenge ebinene by’akozesa nga ofiisi ,aba woteeri eyo baamuwawaabira mu mu 2008 olw’obutasasula ssente ezisoba mu bukadde 100.

Mu kiseera kino aleppuka n’amabanja g’ekitongole ky’emisolo ekya URA ne Banka ez’enjawulo. Amawanga ga Afrika amalala g’atera okugendamu mulimu Zimbabwe ne Zambia gy’alina ddiiru ezenjawuylo ne gavumenti zaayo.

Wano mu Uganda akuumibwa bajaasi. Mu maka g’obwapulezidenti okugendayo takonkona. Mu kiseera kye kimu POLIISI etandise okunonyereza ku bungi bw’ensimbi Ezra ze yabadde nazo kubanga tewali bbanka esobola kuzifulumya ku lunaku lumu. Ezra yalaze obukadde bwa doola 3.

Poliisi enoonya Ezra okumukwata kyokka baategedde luvannyuma nti ali mu Uganda ku Lwokuna ng’amaze okukuba olukung’aana lwa bannamawulire. Buli we bamulowooza baatuuseewo nga taliiwo.

Kigambibwa nti bwe yamaze okwogera ne bannamawulire n’afuluma eggwanga. “Singa twategedde ekifo mwe yabadde, twandi mukutte. Alina emisango mingi tumunoonya kyokka tetumulaba. Mwakoze (Abammawulire) ensobi obutatutemyaako ku kifo Ezra gye yabadde. Mukimanyi nti tukolera wamu,” Nabakooba bwe yagambye eggulo.

“Tutandise okwekenenya ensibuko y’ensimbi za Ezra kubanga tewali bbanka mu Uganda esobola kukuwa bungi bwa nsimbi nga Ezra ze yabade nazo mulundi gumu. Wadde oba tolina tteeka ly’omenye okubeera n’ensimbi ennyingi, gyoziggye poliisi ky’eba etunuulira,”Nabakooba bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...