TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababadde balanga emirimu ne banyaga abantu bakwate

Ababadde balanga emirimu ne banyaga abantu bakwate

Added 3rd September 2010

Robert  Kazibwe ow’e Namung’oona ne Henry Nsubuga ow’e  Kawaala be baakwatiddwa nga babadde bayisa ebirango ku mikutu egy’enjawulo nga balanga emirimu era we baabakwatidde nga babbye abantu abasoba mu 100.

Kigambibwa baludde nga banyaga abantu abaggulawo emisango ku poliisi e Na

Robert  Kazibwe ow’e Namung’oona ne Henry Nsubuga ow’e  Kawaala be baakwatiddwa nga babadde bayisa ebirango ku mikutu egy’enjawulo nga balanga emirimu era we baabakwatidde nga babbye abantu abasoba mu 100.

Kigambibwa baludde nga banyaga abantu abaggulawo emisango ku poliisi e Nakulabye era nga kino kye kyagiwalirizza okubalinnya akagere.  Kazibwe alina omuntu gwe yakubidde essimu n’amulagira ajje ku ofiisi za World Vision e Nakulabye wabula yamulagidde kumusanga ku kkubo ng’amuggyeeko emitwalo 17 n’essimu. Wabula ono ye yakubye  enduulu poliisi n’emukwata n’abatuusa ku Nsubuga.  Kazibwe yagambye nti alina essimu ya layini bbiri gy’akozesa okufuula amaloboozi olumu ne yeeyita Captain Sarah ng’alimba abantu nti y’avunaanyizibwa ku by’entambula mu kitongole. Abasinga be babbye babadde babasuubiza kubawa bwa ddereeva.

Abantu be babbye ne baloopa kuliko: Omusawo w’ebisolo David Kayongo ow’e Kasana Luweero baamubba  170,000/=  n’essimu ng’omusango guli ku fayiro SD:31/19/08/10. Samuel Bakusike ow’e Mbuya 155,000/- n’essimu ng’omusango guli ku fayiro SD:12/10/07/10. Robert Nantuli 100,000/- owa Ntuba zooni e Kawempe omusango guli ku fayiro SD:37/19/05/10.

Inocent Nzeyi ddereeva ku ssomero lya namirembe Hill Side ku lw’e Gayaza emitwalo 260,000/ n’essimu.

Omu ku babbibwa yagambye nti lwe baamubba baasooka kumutambulizamu mmotoka bwe baamuggyako sente n’essimu n’agezaako okukaayana ne bamuggyirayo baasitoola ne bamusindika n’agwa ebweru ne bavuga ne badduka. Ennamba z’essimu ze bababdde bakozesa kuliko 0779000004 gye bayita eya captain Sarah, 0751521849  eya Alex makanika amatuufu ye Henry Nsubuga.
   

Ababadde balanga emirimu ne banyaga abantu bakwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu