Omwogezi w’amagye amakuumaddembe e Somalia, Maj. Ba-Hoku Barigye yategeezezza bannamawulire eggulo nti abajaasi ba UPDF battiddwa baabadde bakuuma amaka ga Pulezidenti Sherif Ahmed agayitibwa Villa Somalia.
Yannyonnyodde nti abajaasi ba Uganda abattiddwa n’abaalumiziddwa baakubiddwa ekikompola ekyakasukiddwa abatujju abamaze wiiki nnamba nga balumba amagye ga gavumenti n’aga AMISOM agakuuma eddembe. Abantu baabulijjo 100 be baakwattibwa ate abalala 200 ne balumizibwa n’abalala bangi bali mu kubungeeta oluvannyuma lw’okudduka mu maka gaabwe.
Emirambo gituuka LEERO
Omwogezi w’amagye ga UPDF, Lt. Col. Felix Kulayigye yakakasizza okuttibwa kw’abajaasi baffe n’agamba nti emirambo gy’abattiddwa gisuubirwa okukomezebwawo ku butaka olwaleero.  Â
Ng’enkola y’amagye bw’eri yagaanyi okwatuukiriza amannya gaabwe okutuuka ng’ab’eng’anda zaabwe bamaze okubabikira.
Kulayigye yagasseeko nti abajaasi omunaana abaalumiziddwa tebali mu mbeera mbi nnyo era bakyajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mogadishu.
Okumala wiiki, amagye amakuumaddembe gabadde gattunka ne bannalukalala ababadde bagezaako okuwamba amaka ga Pulezidenti nga ku Lwokubiri oluwedde baatega bbomu eyatta abantu 33 okwali ababaka ba Palamenti ya Somalia 11 n’abajaasi bataano.
Ku Lwomukaaga baawambye oluguudo oluva ku kisaawe ky’ennyonyi okutuuka ku maka ga Pulezidenti era nga wano we basinzidde okuganyugunyaamu ekikompola.
Enkambi za al Shabaab zaawambiddwa
Eggulo amagye ga Gavumenti ya Somalia gaalangiridde nti gawambye enkambi bbiri okuva ku bannalukalala ba al Shabaab, mu lutalo olw’amaanyi olwabadde mu kitundu ky’e Hodan mu kibuga Mogadishu.
Wabula bannalukalala olwabiwulidde ne batwala bannamawulire mu nkambi ezoogerwako ne babalaga emirambo gy’abamu ku bajaasi ba gavumenti be basse mu kulwanagana okwafiiriddemu abantu basatu n’okulumya abakunukkiriza mu kkumi. Â
Omulambo gw’omujaasi ono baagusiibyeko emigwa ne bagukulula mu luguudo okufaanana amagye ga Gavumenti kye gaakoze wiiki ewedde bwe gaasibye omulambo gw’owa al Shabaab gwe gasse ne bagusiba ku loole ne bagukulula mu luguudo.
Col. Abdullahi Hassan Barise omwogezi wa poliisi ya Somalia yategeezezza eggulo nti amagye ga Gavumenti gaawambye enkambi y’e Sigale mu Disitulikiti y’e Hodan erudde ng’eri mu mikono gya bannalukalala ne gagattako n’okweddiza enkambi eri wakati wa Dabka ne Bakara ebadde yatwaliddwa aba al Shabaab nga bagiggya ku kibiina kya Ahlu Sunna Walajam ekikolagana ennyo n’eggye lya AMISOM erikuuma emirembe mu kaweefube w’okulwanyisa obutuju. Wabula bino bannalukalala babisambazze ne bamuyita pokopoko wa Gavumenti.
Omukutu gw’amawulire e Somalia ogwa Alshahid gwategeezezza nti we bwazibidde ng’amasasi, bbomu n’ebikompola bikyesooza naddala mu katundu k’e Howlwadag n’e Dabka abaserikale ba Gavumenti ya Somalia we baagala okuwamba enkambi aba al Shabaab mwe basinziira okukola ennumba mu kitundu ky’e Bondhere amagye ga UPDF we gaasimba amakanda.
Ethiopia eyongeddeyo amagye:
Gavumenti ya Ethiopia nayo eyongedde okuyiwa abajaasi e Somalia okwa-ng’anga bannalukalala ba al Shabaab ne Hizbul.
Kino kiddiridde omuku-lembeze wa Ethiopia Meles Zenawi okusuubiza okuyiwayo amagye singa aba AMISOM omuli amagye ga Uganda ne Burundi bamulaajanira nti balumbiddwa.
Okusinziira ku mawu-lire agaavuddeyo, biroole ebijjudde abajaasi ba Ethiopia byasanze ensalo ne biyingira Somalia,eggulo bayingidde kkiromita 335 munda mu Somalia.
Aba UPDF 4 battiddwa e Somalia