Aba LC mu kitundu kino baabalondodde ne babagwako nga babikukulidde mu bukomera ku kkubo erigenda ku kifo ekisanyukirwamu ekya Club Leatic nga batumizza bodaboda babitikkeko ne babagombamu obwala.
Basoose kubaliggya bundooya ne balyoka batandika okubakuba nga bwe balaajana nga bwe batakyaddamu kubba kyokka nga buteerere abatuuze baswakidde.
Ow’ebyokwerinda mu muluka gw’e Luwafu Mw. Vincent Muwonge muliraanwa wa Balaba yategeezezza nti mukazi we eyakedde okutegeka omwana agenda ku ssomero ye yalabye omusajja ng’awalampa ekikomera n’amuzuukusa.
Ate ye owa LC Lauben Ssempijja yategeezezza nti guno si gwe mulundi ogusoose ng’abavubuka abo bakwatibwa mu bubbi.
Babakutte bava kubba mupoliisi e Makindye