Ku Poliisi, yawerekeddwa looya we. Yatuukidde mu ofiisi y’omumyuka w’akulira bambega Moses Sakira eyamuggyeko sitetimenti ng’ayambibwako bambega abalala. Omwogezi wa Poliisi, Judith Nabakooba yategeezezza Bukedde nti Sekikubo yabadde ku poliisi n’omukuumi we Alex.
Alex yakubye essasi mbega wa ISO, Lt. Habib Nsamba Kanyarutookye mu lubuto.
Bino byaddiridde Sekikubo okuwakanya okulonda e Sembabule obutagenda mu maaso okutuusa ng’eggombolola y’e Lwemiyaga gy’akiikirira nayo emaze okulonda.
Ekyaddiridde kulwana wakati w’abawagizi ba Sekikubo ne Minisita Sam Kuteesa. Kigambibwa nti Sekikubo yaggye ku mukuumi we pisito n’agikwata olwo n’atandika okusambasamba ebyabadde bigenda okukozesebwa mu kulonda. Okulonda kwayimiriziddwa kyokka embeera bwe yakkakkanye ekiwayi kya Kuteesa ne kiddayo ne bamulonda ku Bwassentebe.
Yakitadde ku Kuteesa nti ye yavuddeko embeera okutabuka kubanga yabadde tayagala b’e Lwemiyaga kwetaba mu kulonda.
Maj. Gen. Kale Kayihura yategeezezza bannamawulire nti ayimirizza akulira poliisi y’e Sembabule, Obedi Okwir olw’okulemererwa okukozesa obusobozi bwe yabadde nabwo okukuuma abantu.
Yagambye nti bagenda kunoonyereza okuzuula engeri Sekikubo gye yafunyemu pisito gye yabadde nayo ate ng’eyiye yamuggyibwako.
Oluvannyuma Sekikubo yatwaliddwa e Ssembabule gye baamusibidde.  Â
Ebya Sekikubo byonoonese