TOP

Ankaka akaboozi

Added 5th July 2010

Martha - Kyengera.

DDEMBE lyo okugaana ekikolwa kino. Abasajja abamu balowooza nti okukaka omukwano tekirina buzibu bwonna. Abasajja abatera okukola ekintu kino tebatera kuba bantu balamu, abamu bakikola mu butamanya. Tokkiriza mbeera eno. Nsuubira olina aba LC ku kyalo abakola ku nsonga

Martha - Kyengera.

DDEMBE lyo okugaana ekikolwa kino. Abasajja abamu balowooza nti okukaka omukwano tekirina buzibu bwonna. Abasajja abatera okukola ekintu kino tebatera kuba bantu balamu, abamu bakikola mu butamanya. Tokkiriza mbeera eno. Nsuubira olina aba LC ku kyalo abakola ku nsonga z’amaka. Oli wa ddembe okumuloopa ne ku poliisi. Bw’osirika oba weeteeka mu buzibu kuba kikuyisa bubi omusajja ono okukukoseza. Ekirala omusajja ono ayinza okuba ne siriimu. Weewale okubeera mu mbeera eno kuba ejja kukuleetera obuzibu.  Tokkiriza bulabo oba ssente ze, olwo aba akugula, totambula kiro mu bifo ebikyamu. Omusajja ono mugambe nti ky’akola kikyamu nti era ogenda kumuwabira ku poliisi. Nsuubira bw’aba ategeera ajja kukwesonyiwa.

Obutanyumya bulwaza?
NNUMIZIBWA mu bitundu by’ekyama kyokka seegattangako. Nnumizibwa omugongo abamu bang’amba nti buteegatta. Nnina emyaka 19 naye mbadde sinnabyagala olw’ebizibu ebivaamu.
Judith -  Mbarara.

OKUSOOKERA ddala weebale kwekuuma kuba ekintu kino kikulu. Abakugamba nti obuteegatta kirwaza bakulimba. Okulumizibwa omugongo oluusi mu bawala abato kitera okubeerawo nga bagenda mu nsonga.  Kino bangi bakifuna olw’enkyukakyuka mu mubiri. Nga bw’okyali omuvubuka, genda ku ‘Naguru Teenage Centre oba e Kiswa Clinic e Bugolobi . Bajja kukujjanjaba ku bwereere.

Nsanyuse ntya  mukyala wange?
NDI mufumbo naye njagala mukyala wange abeere musanyufu awaka. Mmukolere ki?
B.T - Kampala.

ABASAJJA abamu tebalowooza ku ngeri gye basobola kusanyusa bakyala baabwe awaka. Waliwo abasajja nga beerowoozaako bokka era ng’omukyala tamutwala ng’ekikulu. Okusookera ddala, buli mukyala ayagala omusajja alina obuvunaanyizibwa mu maka. Omusajja alina okulabirira amaka, okulaba kye bagenda okulya awaka, eby’okwambala, okusomesa abaana n’ennyumba mwe basula naddala bw’eba yaakupangisa. Bino byonna bisinziira ku ssente ze mulina mu maka. Ennaku zino abakyala nabo balina ku ssente, newankubadde mukyala wo alina ssente, ggwe olina obuvunaanyizibwa okumusanyusa mu ngeri endala era tolekaayo kumutonera ku bulabo. Teri mukyala ayagala musajja munywi nnyo oba omwenzi. Omwenge n’obwenzi byonoona amaka. Omusajja omuyombi oba ow’olugano naye amala emirembe ku mukyala. Obuliri nabwo kikulu. Olina okuyiga mukyala wo mu buliri n’okumanya ebimusanyusa era n’okugezaako okumusanyusa. Ennaku zino abakyala abasinga baagala nnyo omusajja ng’akulaakulana. Walina okubeerawo enjawulo mu mbeera y’amaka. Omusajja atamanyi kuyiiya amenya. Wabula ng’okussinga olina okusaamu mukyala wo ekitiibwa era omutwale ng’ekikulu. kyokka n’omukyala alina okusanyusa bba mu ngeri ezitali zimu.

Kiki ekikendeeza amaanyi g’ekisajja?
Kiva ku ki omusajja okukendeera amaanyi ge ag’obutonde? Ekirala, nsobola okufuna obujjanjabi kuba ntwala ebbanga ddene okudda mu muzannyo. Nnyamba
H.B - Kampala.

MWANA wange bw’oba oli musajja nga Katonda ye yakutonda, amaanyi g’ekisajja gaba galina okukendeera. Tewali musajja asigaza maanyi ge yalina ng’akyali muvubuka.  Kino kya butonde era abasajja abaagala okukyusa embeera enno batawaanira bwerere kuba amaanyi galina okukendeera. Sigaanye waliyo ebintu ebirala ebikendeeza amaanyi ng’obulwadde obumu, obukoowu mu mubiri, ebirowoozo, n’ebirala ng’ebyo. N’ekirala, singa omukwano gw’olina eri munno gukendeera, n’obwagazi gy’ali bukendeera kale n’otofuna maanyi bulungi.

Tetwagala kwegatta
TUMAZE mu bufumbo emyaka esatu era tulina omwana omu. Obuzibu bwe tulina nti tetukyayagala kwegatta. Munnange akomawo ng’agamba nti akooye era nga yeebaka era nange bwentyo. Sirowooza nti alina omukazi omulala kuba mmwesiga ate nga nange sirina musajja mulala. Tuyambe ku nsonga eno kuba obufumbo bwaffe butuuse okwonooneka.
M.N - Mpigi.
 
Abafumbo abamu okwegatta bakuteekako amateeka era kino kireeta ebizibu mu mukwano. Okusookera ddala si kyateeka nti abafumbo balina okwegatta buli lunaku. Okwegatta kya mugaso mu bufumbo wabula. Kya magezi okwegatta nga mwembi mufunye obwagazi era nga musuubira okufunamu essanyu. Abafumbo abasinga okwegatta baakufuula nti kuyamba mu kuzaala era bwe mumala okuzaala ng’ebirowoozo mubiggyayo. Okwegatta kubayamba okufuna essanyu ne munno.  N’olwensonga eyo mukufuule omuzannyo ogubawa essanyu mu bufumbo. Singa mwegattira mu sitayiro emu, kyangu okukoowa. Mulina okuyiiya engeri gye muyinza okunyumirwamu akaboozi era singa mwembi mulina ebizibu mu maaka, kizibu okufuna obwagazi. Mulina okuggyawo obuzibu musobole okunyumirwa okwegatta. Yogera ne munno nga muli mu mukwano musobole okumanya obuzibu we buva.

Ankaka akaboozi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...