TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatulafiki mukaaga ababadde batulugunya badereeva bakwate

Abatulafiki mukaaga ababadde batulugunya badereeva bakwate

Added 4th July 2010

Aba ‘tulafiki’ abaakwatiddwa bali bana kw’ogatta abapoliisi ennawunyi babiri abakolera ku luguudo lw’e Bbombo era kigambibwa nti baddereeva bangi baludde nga babeemulugunyaako nti babateegera e Matugga ne babakanda ensimbi.

Abaakwatiddwa kuliko Cpl. Jamiru Kirunda nnamba 19796, PC Evans T

Aba ‘tulafiki’ abaakwatiddwa bali bana kw’ogatta abapoliisi ennawunyi babiri abakolera ku luguudo lw’e Bbombo era kigambibwa nti baddereeva bangi baludde nga babeemulugunyaako nti babateegera e Matugga ne babakanda ensimbi.

Abaakwatiddwa kuliko Cpl. Jamiru Kirunda nnamba 19796, PC Evans Taremwa nnamba 34543, PC. Alfred Otim nnamba 30430, PC. Innocent Obba nnamba 32054, Patrick Dratoo ne Patrick Ochen.

Ekikwekweto mwe baabakwatidde kyakoleddwa ab’ekitongole ekirondoola enneeyisa y’Abapoliisi ekya Professional Standards Unit (PSU) ekikulirwa John Ndungutse ku Lwomukaaga ne babazingako.

Baasangiddwa n’ensimbi 542,500/= wamu ne ddoola 20 (mu za Uganda 45,000/=) ezigambibwa nti baazifunye mu makubo ag’enguzi. Kirunda baamusanze n’ensimbi 26,500/=, Otim baamusanze na 151,000/=, Obba baamusanze na 242,000/= kw’ossa ne ddoola 20, Taremwa baamusanze na 151,000/= Dratoo baamusanze na 17,000/= ate Ochen baamusanze ne shs 600 zokka.

Ndungutse mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe kya poliisi mu Kampala eggulo yategeezezza nti abaakwatiddwa baalemeddwa okunnyonnyola engeri gye baafunyeemu ssente zino nti era abamu baabadde tebamanyi na muwendo gwa ssente ze baabadde nazo.

Yayongeddeko nti Taremwa yagezezzaako okudduka nga bamukwata ate Otim ne yeegaana ekikooti kye, mwe yabadde akukulidde ssente. “Tuludde nga tufuna okwemulugunya ku b’ofiisa bano era Taremwa abadde yafuuka nga musolooza wa musolo atayitibwako mmotoka yonna nga tagiggyeeko nsimbi!” Ndungutse bwe yategeezezza.

Ndungutse yannyonnyodde nti abaakwatiddwa baabadde baafuna ekimotoka ekikadde kye bassa ebbali w’oluguudo e Matugga nga mwe bakweka ssente ze babeera baggye mu bantu era nga baaleeta abaserikale babiri Dratoo ne Ochen nga be bakuuma ekimotoka ekyo.

Akulira poliisi y’ebidduka Basil Mugisha yagambye nti abaakwatiddwa baawummuziddwa ku mirimu gya poliisi okutuusa ng’okubanoonyerezaako ku misango gy’okulya enguzi n’okukozesa obubi ebifo byabwe nga kuwedde era ebinaaba bizuuliddwa kwe banaasinziira okubawa ebibonerezo omuli okuweesebwa engassi, okusibwa oba okugobwa mu poliisi.
     

Abatulafiki mukaaga ababadde batulugunya badereeva bakwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...