TOP

Kabaka acamudde abantu mu mwoleso

Added 2nd July 2010

Yatuukidde mu kitiibwa ku ssaawa nga 5.15 ez’oku makya mu mmotoka ey’ekika kya Lexus eriko  akabonero ka Buganda eyamuggye mu Bulange era yabadde tannatuuka ku Wankaaki n’avaamu.

Kabaka eyabadde mu kkanzu ng’ayambaliddeko essuuti eya bbulu, yatandikidde ku kubuuza ku baana b’am

Yatuukidde mu kitiibwa ku ssaawa nga 5.15 ez’oku makya mu mmotoka ey’ekika kya Lexus eriko  akabonero ka Buganda eyamuggye mu Bulange era yabadde tannatuuka ku Wankaaki n’avaamu.

Kabaka eyabadde mu kkanzu ng’ayambaliddeko essuuti eya bbulu, yatandikidde ku kubuuza ku baana b’amasomero bakira abalanya nga kwe batadde n’okukuba emibala gy’ebika byabwe, ate nga bw’awuubira abantu abakulu abaabadde bayimiridde ku luuyi olwa ddyo.

Ng’amaze okubuuza ku baana yaatuukidde mu nnyumba omuli ekyoto n’akumamu n’evvu ne limufuumuukira, n’alya ne ku mmwanyi n’oluvannyuma ne bamusibirira ettu lya Nnabagereka.

Oluvudde  ku kyoto Kabaka ayise mu Wankaaki n’ayingira Olubiri n’aweta ng’adda ku ddyo okwolekera kifo eky’omulembe ekyazimbiddwa aba Banka ya Centenary omuli ebifaananyi ebiraga ebyafaayo bye mu myaka 50 n’ebirala ebiraga obulamu bwa kitaawe Ssekabaka Muteesa II.

Mu lusuku lwa Nnabagereka Kabaka yasanzeeyo abayimbi Bobi Wine ne Mubiru Kitooke, abaabadde bafukamidde nga bawaata amatooke mu makanzu wamu n’okugisaanika.

Bobi yategeezezza Kabaka nti kino kye baabadde bakola kyabadde kiraga omusajja Omuganda ow’empisa afumbira abaana be omukyala bw’aba taliiwo oba ng’alwadde.

Mu lusuku lwa Nnabageraka Kabaka yasimbye omutuba era olwamaze omukolo guno n’alyoka agenda mu mwoleso ogwatekeddwa okumpi n’omulyango gw’Olubiri ogutunudde mu Ndeeba.

Mu mwoleso Kabaka yeewuunyizza nnyo emisota eminene egyaleeteddwa  n’asanyukira n’Empologoma gye yakutteko wakati mu mizira n’okusaakaanya okuva mu bantu bakira abamulondoola buli wadda. Bwe yamaze okulambula Kabaka  n’agenda mu kifo awaabadde emikolo emikulu.

Mu kwogera kwe Kabaka yakuutidde Abaganda okussa ensimbi mu byobulambuzi nga bayita mu byobuwangwa.

Yasiimye abaategese omwoleso guno n’abaagaliza okutegeka emirala mingi egifaananako nga gino giyambe abantu okuyiga ku byobuwangwa bwabwe.

Kabaka acamudde abantu mu mwoleso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...