TOP

Museveni awadde ekkanisa obukadde 100

Added 3rd June 2010

Ekyo kitwalibwa nga kikolimo. Mpaddeyo obukadde 100, nammwe mugatteko ekkanisa yaffe tugiggyeko ekikolimo”, bwe yategeezezza.

Museveni era yasabye Abalabirizi ne bannaddiini  bamuyambeko okukunga abantu bakole bave  mu bwavu kubanga  Yesu  gwe bagoberera yali mukozi nnyo ng’ali

Ekyo kitwalibwa nga kikolimo. Mpaddeyo obukadde 100, nammwe mugatteko ekkanisa yaffe tugiggyeko ekikolimo”, bwe yategeezezza.

Museveni era yasabye Abalabirizi ne bannaddiini  bamuyambeko okukunga abantu bakole bave  mu bwavu kubanga  Yesu  gwe bagoberera yali mukozi nnyo ng’alina emirimu ena. Ogw’obubazzi, okubuulira enjiri, okuwonya abantu n’okuliisa abaamugobereranga.

Ng’ali e Nakiyanja we yavudde okugenda ku ludda lw’Abakatoliki, yagambye nti abagoberezi ba Kristo bangi nnyo abali mu bukadde 25 mu Uganda ne yeewuunya lwaki abantu abangi bwe batyo bakaaba obwavu.

Kino yakitadde ku bannaddiini nti tebakoze mu bagoberezi baabwe mulimu. N’agamba nti yeewuunya okuba nga Gavumenti eweerera abaana mu pulayimale ne siniya n’eggattako okuzimba ebibiina mwe basomera n’okusasula emisaala gy’abasomesa, kyokka abazadde ne bazitoowererwa okufunira abaana baabwe emmere y’okulya ku ssomero.

“Ndowooza nti ogwo gwandibadde mulimu gwa bannaddiini okukunga abantu, buli kintu tuleme kukirekera Gavumenti”, bwe yagambye. N’agattako nti e Bundibugyo kiri wala nnyo okuva e Kampala ate teri nguudo nga n’olusooseeyo, NRM ye yalukola kyokka abantu baayo bagagga nnyo okusinga aba wano abaliraanye ekibuga n’asoomooza bannaddiini bakunge abantu bakozese emikisa gino gyonna bagaggawale.

Kwe kudda ku babba ssente z’eggwanga n’agamba nti ekyennyamiza mulimu n’abagoberezi ba Kristo abatava mu kkanisa na Klezia- kitegeeza nti okulwanyisa emize emibi, ekkanisa nayo ekuvunaanyizibwako butereevu.

Okusaba okwategekeddwa Obulabirizi bwa West Ankole kwetabiddwako Katikkiro Apolo Nsibambi, ebikonge bya Gavumenti n’abalamazi abaavudde mu bitundu ebyenjawulo.

                                                      

Museveni awadde ekkanisa obukadde 100

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...