TOP

Omusango gwa CBS gwongezeddwayo

Added 17th May 2010

Balooya ba CBS baalumirizza oludda lwa gavumenti olw’okuziimuula  kaweefube yenna gwe bazze bakola okubasisinkana bateese kubanga ebiwandiiko bye babaweereza tebaabyanukula.

 Wabula puliida wa gavumenti, Patricia Mutesi yategeezezza omulamuzi nti aba CBS bakyalemeddwa okussa mu buwandiike ens

Balooya ba CBS baalumirizza oludda lwa gavumenti olw’okuziimuula  kaweefube yenna gwe bazze bakola okubasisinkana bateese kubanga ebiwandiiko bye babaweereza tebaabyanukula.

 Wabula puliida wa gavumenti, Patricia Mutesi yategeezezza omulamuzi nti aba CBS bakyalemeddwa okussa mu buwandiike ensonga ze baagala okutegeeraganako ne  gavumenti. Bannamateeka ba CBS, Christopher Adrama ne Jane Akteng okuva mu kkampuni ya Katende, Sempebwa and Company Advocates baategeezezza omulamuzi nti ebiwandiiko okuli ensonga za CBS  baabiweerezza dda mu gavumenti.

  Bino byabadde mu ofiisi y’Omulamuzi wa kkooti enkulu, Vincent Zehurikize, balooya b’enjuyi zombi gye baasisinkanye okunnyonnyola omulamuzi we batuuse mu nteeseganya basobole okumalira omusango ebweru wa kkooti.  

Obutafaanana bulijjo abakozi ba CBS lwe beeyiwa ku kkooti buli omusango lwe gubaayo, eggulo wabaddeyo omuntu omu yekka, Wasswa Mukasa eyabakiikiridde. Olutuula lw’omu ofiisi y’omulamuzi lwamaze eddakiika nga 10 zokka omulamuzi Zehurikize n’alwabula okutuuka nga 8 July 2010.   

Omulamuzi okusalawo okwongezaayo omusango okutuusa 8 July kyaddiridde Puliida Mutesi okumusaba abongere obudde obulala  bagezeeko okuteesa, bwe bigaana ku luno, omusango gulyoke gutandike okuwulirwa.

Mu lutuula lwa April, 19 2010 omulamuzi yali awadde gavumenti n’aba CBS nsalessale wa May 17, 2010 okutegeeragana, bwe balemagana omusango gutandike okuwulirwa. Mutesi yagambye nti alina essuubi nti bajja kusisinkana ne balooya ba CBS bateese, olwa 8 July we lunaatuukira bajja kubaako we batuuse.

Omusango gwa CBS gwongezeddwayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...