TOP

Okuwera okusoma mu luwummula tekimala

Added 11th May 2010

ABAKUGU bagamba nti omuyizi alina okuwummuza ku bwongo, kimuyambe okussa mu nkola by’aba asomye n’okwenyigira mu mirimu emirala ng’egyebyemikono.

WABULA minisitule okuwera okusomesa mu luwummula nga tetunuulidde bikireeta eba teyambye bazadde, amasomeron’abayizi.

EBYENJIGIRIZA ebiri

ABAKUGU bagamba nti omuyizi alina okuwummuza ku bwongo, kimuyambe okussa mu nkola by’aba asomye n’okwenyigira mu mirimu emirala ng’egyebyemikono.

WABULA minisitule okuwera okusomesa mu luwummula nga tetunuulidde bikireeta eba teyambye bazadde, amasomeron’abayizi.

EBYENJIGIRIZA ebiriwo kati byetooloolera ku kuyita bigezo, era abazadde abamu kye bava bawaayo ensimbi za koocingi oba okusomesa abaana mu luwummula nga tebakakiddwa olw’okwagala abaana baabwe okuyitira waggulu.
KINO kiwadde abasomesa omukisa okunoonya ssente mu makubo amakyamu nga bagaana okumalayo ebisomesebwa, olwo ne balaalika abayizi nti bwe bataasome luwummula baakusubwa.

EKIRINA okukolebwa okulwanyisa koocingi n’okusoma mu luwummula, kwe kukyusa enteekateeka y’ebyenjigiriza ereme kutunuulira kya kuyita bigezo byokka wabula ng’essira tulissa ku kutendeka omwana asobola okweyimirizaawo mu bulamu bwe obw’omu maaso.

ABAZADDE naddala mu bibuga nabo beetaaga okuyingizibwa mu nteekateeka z’oluwummula lw’abaana baabwe kubanga abamu tebalina gye basobola kubawummuliza oba okubafunira bye bakola, olwo ne basigala kutaayaaya. Olw’okuba abazadde bafuna obuzibu bw’okukuuma abaana mu luwummula, bwe bafuna omukisa gw’omwana okusoma mu luwummula, nga bassa ekikkowe.

ENTEEKATEEKA mu byenjigiriza bw’eba tekyusiddwa, okuwera koocingi oba okusomesa mu luwummula kiyinza obutayamba.

minisitule okukkiriza amasomero nga mu kiseera ky’oluwummula abayizi basomako kitundu naddala abali mu bibiina nga P7, S4 oba S6 ne balema kumala lunaku lulamba nga bali ku ttivvi n’okwenjeera.

Okuwera okusoma mu luwummula tekimala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...