TOP

Pasita awoza gwa bufere

Added 12th April 2010

Steven Bukenya ow’e Makindye mu Wasswa  Zooni ng’alina ekkanisa e Kibuye gye yagaanyi okwogera amannya, yakwatiddwa poliisi ya CPS nga kigambibwa nti yatuukirira akulira kkampuni ya Simple Solution (U) Ltd.,  Suzan Mugabi n’asaba bamuwoole obukadde 50 n’abasingira poloti e Mukono etali yiy

Steven Bukenya ow’e Makindye mu Wasswa  Zooni ng’alina ekkanisa e Kibuye gye yagaanyi okwogera amannya, yakwatiddwa poliisi ya CPS nga kigambibwa nti yatuukirira akulira kkampuni ya Simple Solution (U) Ltd.,  Suzan Mugabi n’asaba bamuwoole obukadde 50 n’abasingira poloti e Mukono etali yiye.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Henry Kalulu yategeezezza nti Bukenya olwafuna ssente zino nga July 30, 2009 n’aggyako essimu ye,  era okuva olwo abadde yeekweka.

Yali abasuubiza okusasula nga October 30, 2009 nga ssente bazigya ku akawunta ye mu banka emu kyokka baagenda okutuukayo nga tewali wadde ekikumi.

Kalulu agambye nti Bukenya yagguddwako; ogw’okugaba cceeke n’ebuuka, okufuna ensimbi mu lukujjukujju n’aggyako essimu n’okusingayo poloti etali yiye. Giri ku fayiiro No CRB 2092.

Pasita awoza gwa bufere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...