Aba kkampuni ya Stilcor (U) Ltd bagamba nti Kirumira yamenya endagaano gye baakola nga June 2007 abapangise omwaliro ogusooka ku Royal Complex mu Kampala ng’alina okusasula obukadde 12 ez’obupangisa.
Mu February 2009 Kirumira yamugaana okuyingira mu bizineesi ye n’okuggyamu bintu bye. Kirumira yagiggula nga April 27, 2009 n’atandika okugikoleramu ng’akozesa bintu bye n’abakozi be kyokka n’alemererwa n’okusasula omusolo ku bizineesi eno.
Newakubadde kkampuni ya Stilcor (U) Ltd yali ebanjibwa 33,200,000/- ez’obupangisa naye baamufiirizza okufuna 490,000/- buli lunaku nga bw’ogatta emyezi 11 zaatakoledde abanja 161,700,000/-. Kuno kwogatta ebintu bye yatwaliramu ebibalirirwamu 117,803,520/- .
Kirumira yaweereddwa ennaku 15 okwewozaako oluvannyuma lw’okufuna empaaba yaabwe.
‘Yawamba bizinensi yange’