TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bambega baayogeranga ne Kajubi nga yeekwese poliisi emunoonya

Bambega baayogeranga ne Kajubi nga yeekwese poliisi emunoonya

Added 1st April 2010


Mulamuzi: Ekirayiro kye wakuba nga 16 October 2009, kyayitako ebiseera, ddamu olayire bupya.
Rugumayo: (Alayira ng’akutte Bayibuli)
Wagona: Wajja wano n’owa obujulizi nga 16 October 2009, okijjukira?
Rugumayo:


Mulamuzi: Ekirayiro kye wakuba nga 16 October 2009, kyayitako ebiseera, ddamu olayire bupya.
Rugumayo: (Alayira ng’akutte Bayibuli)
Wagona: Wajja wano n’owa obujulizi nga 16 October 2009, okijjukira?
Rugumayo: Ye ssebo.
Mulamuzi: Okyali Masaka ng’akulira bambega?
Rugumayo: Nnakyusibwa mu January 2009, kati nkolera  Mbarara ng’omumyuka w’aduumira Poliisi  mu South Western Region.
Wagona: Wategeeza kkooti nti nga  28 October 2008,  Kateregga Umar yaleetebwa mu maaso go ku kitebe kya bambega e Masaka?
Rugumayo: Ye ssebo.
Wagona: Wagamba nti yaleetebwa ofiisa ayitibwa Kissa Stephen?
Rugumayo: Ye ssebo.
Wagona: Waliwo ekintu ekirala ekyaleetebwa naye?
Rugumayo: Ye ssebo, Kopolo Kissa yaleeta n’essimu  Nokia 1208 emanyiddwa nga Katooki.
Wagona: Ojjukira langi yaayo?
Rugumayo: Yali ya kivuuvu n’ebiddugavu.
Wagona: Wagikolera ki?
Rugumayo: Kopolo Kissa yaginkwasa ng’ekizibiti ky’omusibe, wabula mu kubuuza Kateregga  mu musango gw’okutemulwa kw’omwana, yantegeeza nti yali akozesezza ssimu eyo okwogeraganya n’omuwawaabirwa (Kajubi).   

Yantegeeza nti ne ku lunaku omwana lwe yattibwa omuwawaabirwa yamukubira amasimu mangi. Kateregga bye yang’amba byammala okusalawo nti essimu ya mugaso mu musango ne nsalawo  efuuke ekizibiti kya Poliisi.
Wagona: Kiki kye wakolera essimu?
Rugumayo: Nnalagira ofiisa wange okugiwandiika  mu bitabo ng’ekizibiti bya Poliisi.
Wagona: Waddamu ddi okukwata ku ssimu eyo?
Rugumayo: Nga 26 November 2008, nnakubira ofiisa avunaanyizibwa ku sitoowa Kopolo Oringo okuleeta essimu eyo mu ofiisi yange. Nnatumya ne ofiisa akuba ebifaananyi mu Poliisi, Kopolo Nyanzi ne mmulagira  okukola okunoonyereza ku ssimu.   
  
Nnamugamba agende mu kkooti akube ekirayiro ekineeyambisibwa okufuna olukalala lw’amasimu agaakubwa essimu eno okuva mu MTN. Nyanzi ne Oringo beekebejja essimu  kyokka tebaagisangamu bubaka bwonna okuggyako amasimu agaali gagikubiddwaako
Wagona: Kiki ekyaddako awo?
Rugumayo: Essimu nnagiddiza ofiisa wa sitoowa.
Wagona: Essimu bw’ogiraba osobola okugitegeera?
Rugumayo: Ye ssebo.
Wagona: Ogirabira ku ki?
Rugumayo: Langi n’ekika kyayo.
Wagona: By’ebyo byokka ?
Rugumayo: Ye ssebo.
Wagona: Eno ssimu ogimanyi (amuweereza essimu).
Rugumayo: Y’eno yennyini, Nokia 1208 n’e langi y’eno.
Wagona: Ssebo omulamuzi, nsaba essimu eno eyingizibwe ng’ekizibiti ky’oludda oluwaabi.

Mulamuzi: Looya Kabega olina ky’ogamba?

Kabega: Tewali ssebo.
Mulamuzi: Eyingiziddwa ng’eki-zibiti, erambiddwako ID P4.
Kabega: Nkitwala nti oli siniya  mu Poliisi?
Rugumayo: Ye ssebo, nkoledde mu kitongole kya bambega emyaka kati 19.
Kabega: Okimanyi nti buli ssimu erina ennamba yaayo era teri zifaanaganya nnamba?
Rugumayo: Ye ssebo.
Kabega: Essimu eno wagiwanulako ennamba eyo?
Rugumayo: Ssaakikola.
Kabega: Essimu wagiramba?
Rugumayo: Ofiisa wa sitoowa yagiramba.
Kabega: Wagiramba?
Rugumayo: Nedda.
Kabega: Okkiriziganya nange nti waliyo Nokia nnyingi eza langi eno?
Rugumayo: Kisoboka.
Kabega: Byonna by’ogambye omulamuzi byaliwo nga 26 November?
Rugumayo: Essimu nnagifuna nga 28 October 2008.
Kabega: Wakola sitatimenti ku poliisi nga 2 April, 2008.
Rugumayo: Ye mu April 2009.
Kabega: Nze ng’amba 2 April 2008. Weeteregeze sitamenti eno otege-eza omulamuzi oba ggwe yagikola.
Rugumayo: Nze nnagikola lwakuba mulimu ensobi ku mwaka.
Kabega: Leka kuddamu bye sikubuuzizza. Ogambye nti tokolangako sitatimenti nga 2 April 2008?
Rugumayo: Ye ssebo.
Kabega: Eno Sitatimenti yiyo?
Rugumayo: Ye ssebo.
Kabega: Wagissaako omukono ku buli lupapula n’ennaku z’omwezi?
Rugumayo: Ye ssebo.
Kabega: Buulira kkooti ennaku z’omwezi eziri ku sitatimenti eyo.
Rugumayo: Kuliko 2 April, 2008.
Kabega: Njagala okakase kkooti nti mu kiseera ekyo, omusango guno gwali tegunnazzibwa.
Rugumayo: Kituufu.
Kabega: Nsaba ompe ku sitatimenti gy’ogamba nti wakola mu April 2009.
Rugumayo: Y’eno sitatimenti.
Kabega: Tekisoboka.
Rugumayo: Y’eno sitatimenti lwa-kuba nnakola ensobi ku mwaka.
Kabega: Mu sitatimenti gye wakola nga 2 April 2008, waliwowe walagira nti wafuna essimu okuva ku Kopolo Kissa. Soma awantu awo omulamuzi awulire.
Rugumayo: (asirika).
Mulamuzi: Sitatimenti ogiyiseemu?
Rugumayo: Ye ssebo. ngiyiseemu, tekiriimu naye waliwo sitatimenti eyokubiri mwe nnakissa.
Kabega: Mu sitatimenti eyo wakissaamu nti walagira Nyanzi okweyongera okubuuliriza ebikwata  ku ssimu eyo?
Rugumayo: Ssaakissaamu.
Mulamuzi: Walaba tekyetaagisa?
Rugumayo: Ssaalaba bwetaavu bwa kukissa mu sitatimenti.
Kabega: Wakiraga mu sitatimenti nti wakwasa owa sitoowa essimu?
Rugumayo: Ssaakissaamu kubanga essimu yali ekyali mu mukono gy’ofiisa owa sitoowa.
Kabega: Ssebo omulamuzi nsaba sitatimenti eyo eyingizibwe ng’ekizibiti ky’oludda oluwawaabirwa?
Wagona: Sikirinaako buzibu.
Mulamuzi: Kiyingiziddwa era kirambiddwako D4.
Kabega: Ddi lwe wasemba okujja mu kkooti eno?
Rugumayo: Ssijjukira bulungi.
Kabega: Lwali 16 October 2009?
Rugumayo: Sijjukira bulungi naye nga nnajja mu 2009.
Kabega: Okimanyiiko nti Mbega Nyanzi yawa obujulizi wano nga 26 October 2009?
Rugumayo: Sikimanyi.
Kabega: Wakola sitatimenti endala nga 5 November 2009?
Rugumayo: Ye ssebo.
Kabega: Wali omaze okuva mu kkooti eno okuwa obujulizi?
Rugumayo: Ye ssebo.
Kabega: Wagikola nga Nyanzi naye amaze okuwa obujulizi?
Rugumayo: Ye ssebo.
Kabega: Nkikussaako nti by’oyogedde olwaleero, bigendereddwamu okuziba ebituli mu musango guno.
Rugumayo: Si kituufu.

Kabega: Ebyo bye byange.

Mulamuzi: Ddi lwe wakwasa mbega Nyanzi essimu?
Rugumayo: 26 November 2008.
Mulamuzi: Ate ku lwa 28 October 2008?
Rugumayo: Nze nnagimukwasa ku lwa 26 November 2008.
Mulamuzi: Essimu yayingizibwa ddi ng’ekizibiti kya Poliisi?

Rugumayo: 28 October 2008.
Mulamuzi: Wakati wa 28 October ne 26 November. 2008, essimu yali ludda wa?
Rugumayo: Yali mu sitoowa.
Mulamuzi: Okakasa?
Rugumayo: (Asirika)
Mulamuzi: Watugamba lwe wajja wano nti Kateregga ng’akwatiddwa, Poliisi mwatandika okuyigga Kajubi kati ali mu kaguli, wagamba nti Kajubi yabalema okufuna wadde mwagezaako okumuyigga. Essimu eno yali mu mikono gyammwe. Tunula ku lukalala lw’essimu ezaakubwa (wakati wa Kajubi ne Kateregga).  
Rugumayo: (Yeetegereza olukalala).
Mulamuzi: Olukalala lulaga nti essimu gy’ogamba nti yali mu sitoowa yakozesebwa okukubira 0772700921 emirundi ebiri ku lwa 30 October 2008, era mwayogeraganya naye.
Wagona: Ssebo omulamuzi, essimu ya 0772700921 ye yakuba ku ya Kateregga eyali mu sitoowa.
Mulamuzi: Ani yagikwata kuba yayogererwako?
Rugumayo: Simanyi ssebo.
Mulamuzi: Owa sitoowa ye yali azannyira ku kizibiti?
Rugumayo: Simanyi ssebo.
Mulamuzi: Nga bw’okomyewo, kankubuuze oba wakimanyaako nti nnamba ya fayiro ey’omusango guno yakolebwamu ensobi?
Rugumayo:Nnakimanyako.
Mulamuzi: Ensobi eyo yakosa fayiro endala 20.
Rugumayo: Kituufu.
Mulamuzi: Wakolawo ki?
Rugumayo: Twagolola ensobi.
Mulamuzi: Omumyuka wo (Etyang) yajja wano n’atuga-mba nti  ensobi yagololwa mu musango gumu gwokka, fayiro endala tezaagololwa?
Rugumayo: Sikimanyiiko.
Mulamuzi: Lwaki baalonda-

mu fayiro emu yokka?
Rugumayo: Eno ye fayiro yokka gye baatutegeezaako nti ennamba erimu ensobi.
Mulamuzi: Ofiisa Onyik akola mu likodi za Poliisi e Masaka yatuula n’akuutiza fayiro emu kw’emu.
Rugumayo: Saakimanyaako.
Mulamuzi: Okitegedde kati nti essimu ya Kateregga eyali mu sitoowa zammwe yayogera n’omuntu (Kajubi) gwe mwali mwetaaga? Essimu yayogera emirundi ebiri naye mmwe abaali bakuuma ssimu temwamanya nti essimu yayogera n’omuntu gwe mwali mwetaaga?
Rugumayo: (Asirika).
Mulamuzi: Kale batulabire ab’e Mbarara. 

Bambega baayogeranga ne Kajubi nga yeekwese poliisi emunoonya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...