Yazze n’omwenge n’anywa ne Nakanyiga mu ddiiro oluvannyuma ne badda mu kisenge. Nakanyiga yatumye Kajeje ku maduuka anoneyo essimu ye gye yabadde atutte okucajinga era omwana olwafulumye ne batandika okumeggana.
Â
Dayirekita ky’ataategedde nti nnannyini mukazi aludde ng’awulira olugambo nti abojjerera mukazi we era omwana olwagenze n’ajja n’alumika ekisenge. Mutabani we Kajeke agamba nti “taata yazze n’annonako ku maduuka ng’akutte omuggo n’andagira mbakonkone era yatuukidde mu kisenge n’agwa dayirekita mu malaka n’amutugaâ€.
Yagambye nti kitaawe abadde asinga kubeera Busoga era dayirekita y’abadde alabirira awaka. Muganda w'omugenzi ayitibwa Wasswa Ntege yagambye nti Batte yali yeewerera dda okumutta kyokka nga nabo bwe bamugambako ng’abeekalizaamu nti talina gy’atwala mukazi wa wansi bw’atyo.
 Â
Muka Kamwasi ow’awaka yagambye nti bba ennaku ezimu abadde amugamba nti asuze ku ssomero. Akulira bambega ba poliisi e Mukono, Joseph Alfred Ojinga yagambye nti poliisi egguddewo omusango gw'obutemu oguli ku fayiro nnamba SD:05/11/03/10 nga bwe bayigga Batte eyadduse.
Dayirekita w’essomero bamuttidde mu bwenzi