NAYE nno abayizi n’abazadde temusaanye kuggwaamu maanyi n’okulowooza okuzzaamu abaana bano okukola S.6 kubanga eriyo amatendekero amalala mangi agayinza okuyamba omuyizi okweyimirizaawo kabe kasinge asinge n’oyo afunye diguli.
TUKKIRIZA nti diguli kikulu nnyo era eggwanga likyetaaga abantu abazirina kyokka era tulina okukikkiriza nti ffenna tetuyinza kuba nazo ate era tekitegeeza nti atagirina tayinza kubeera bulungi.
KINO kye kiseera abantu baffe okumanya nti ekisinga obukulu mu bulamu ye muntu okubaako ekintu ky’ayinza okukola ne yeeyimirizaawo okusinga okunoonya omulimu ogutajja kusobola kumuyimirizaawo ng’avudde mu Yunivasite.
TUTEEKWA okussaawo enkola eyamba omuyizi okufuna amangu ky’akola ate bwe biba bimutambulidde bulungi yeeyambise ssente zeyeekung’aanyirizza okusobola okweyongerayo mu kusoma bw’aba ayagadde afune ne diguli esooka n’okusingawo.
OKUKIKOLA tuteekwa okusooka okukyusa obwongo ffe ng’abazadde, abayizi ne Gavumenti eyongere amaanyi mu matendekero aga Tekiniko n’amalala agalinga ago.
Abazadde mutunuleko ebweru wa Yunivasite