TOP

Museveni anaagaziya Bonnabagaggawale

Added 14th February 2010

Ku Lwokusatu yatandikidde Nansana, wuuyo Wakiso, Kakiri, Masuulita ne Namayumba mu Busiro North awakiikirirwa omumyuka we Polof. Gilbert Bukenya ali mu lukung’ana lw’ebyobulamu mu Amerika. Yakiikirirwa omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Wakiso mu Palamenti, Rosemary Ssenninde.

Ate

Ku Lwokusatu yatandikidde Nansana, wuuyo Wakiso, Kakiri, Masuulita ne Namayumba mu Busiro North awakiikirirwa omumyuka we Polof. Gilbert Bukenya ali mu lukung’ana lw’ebyobulamu mu Amerika. Yakiikirirwa omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Wakiso mu Palamenti, Rosemary Ssenninde.

Ate ku Lwokuna, n’atandikira e Maya mu Ggombolola y’e Nsangi  n’ayimirirako e Kyengera mu Busiro East, wuuyo mu Kira Town Council mu Kyaddondo North, n’akomekkerereza ku mwalo e Busaabala mu Kyaddondo South. Ku Lwokutaano yabadde Ssisa ne Kasanje  mu Busiro South ne mu kibuga Ntebe.  

Yalambudde abalimi n’abalunzi abawerako n’abawa obuyambi obwa buli ngeri ate ne yeetema okukola ebintu bingi. Yagguddewo ebizimbe bina bye yazimbidde essomero lya Masuulita ss, eryali lisaanyiziddwaawo mu lutalo. Yasuubiza okubunyisa amasannyalaze okuva e Kakiri okutuuka e Dambwe ate n’alagira minisita w’ebyenguudo Ying. John Nasasira okussa emifulejje ku luguudo oluva e Kakiri okuyita e Masuuliita.

Yasiimye ne Polof. Bukenya okujjumbiza abantu b’akiikirira ennima ey’omulembe omuli okubagabira ensukusa n’endokwa z’emmwanyi, okulunda ente z’amata n’enkoko z’amagi n’ebirala.  

E Maya n’e Kyengera pulezidenti yeewuunyizza abatuuze okulekawo omubaka Mike Ssebalu akiika mu palamenti y’obuvanjuba bwa Afirika, ne balonda Suzan Nakawuuki n’agamba nti kye kibuzizza enkulakulana mu kitundu.  Mu Kira Town Council, yasiimye ssentebe Mamerito Mugerwa nti akozesezza bu-lungi ensimbi ezimuweebwa gavumenti. Yamusuubizza okwongera ku nsimbi ezimuweebwa n’okubagulira ekyuma ekinyiga kkoolaasi ate omulimi waayo,  Walusimbi Kasolo, alunda ente z’amata, enkoko z’amagi n’olusuku, n’amuwa loole ya Fuso ayongere ku mulimu.

E Busaabala, yasuubizza okutuusaayo kkoolaasi, amasannyalaze n’amazzi ag’emidumu awamu n’okusereka essomero lya pulayimale kibuyaga lye yatikkulako  akasolya. Yabasoomooza nti ebyo kaabikole ate alabe bwe banadda-mu okwekaabya obwavu. 

 Ku Lwokutaano yategeezezza olusirika lwa baminisita lwe yavuddemu okugenda e Ntebe, nti abakozi ba gavumenti tebasaanidde kuganyulwa mu NAADS kuba okwo kuba kwongera ku balinawo.

Museveni anaagaziya Bonnabagaggawale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...

Amaka ga Muzaata (mu katono).

Bamaseeka bambalidde minisi...

BAMASEEKA bambalidde minisita Nakiwala Kiyingi ku ky'okuzza Kluthum Nabunnya mu maka g'omugenzi Sheikh Muzaata...

Kasule Lumumba (ku kkono) Sseggona ne Abdallah Kiwanuka (ku ddyo) balooya ba NUP.

▶️ Ebya Bobi okuva mu mus...

KKOOTI y'oku Ntikko esanze obulippo bw'ekkirizza okusaba kwa Robert Kyagulanyi okuggyayo omusango gw'okusazaamu...

Katoto

Eyawangudde eky'omubaka bam...

EYAWANGUDDE eky'omubaka wa plamenti bamututte mu kkooti ku misango gy'okutunda ettaka n'alemera ekyapa. Mohammad...

Minisita Amongi ng’alambula mu Lubigi.

▶️ Minisita atabukidde ab...

MINISITA wa Kampala, Betty Amongi akunyizza bayinginiya ba KCCA ne kkampuni eyakwasibwa okukola omwala gwa Lubigi...