Bino byabadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’amagye olwa Tarehe Sita egyabadde ku King of Kings SS e Gamba mu Iganga.
Pulezidenti Museveni era nga ye muduumizi wa UPDF ow’oku ntikko ng’ayambibwako omuduumizi wa UPDF Gen. Aronda Nyakayirima ye yakwasizza bannamagye bano omudaali gwa ‘Luweero Triangle Medal’ n’abasiima olw’okulwanirira eggwanga lyabwe.
Abaawereddwa emidaala babadde ba ddaala lya Colonel, Lt. Colonel, Major, Captain ne Lieutenant. Eyakulidde emikolo. Gen. Elly Tumwine yagambye nti okugaba emidaali gino kwesigamiziddwa ku tteeka lya National Honours and Awards Act 2001.
 Pulezidenti eyabadde mu byambalo eby’obwa genero ebijjuvu yagambye olutalo lw’e Luweero ye yali entikko y’entalo endala ezaasooka okununula Uganda.
Omukolo gwetabyeko, Omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya, akulira amakomera Johnson Byabasaija, omuduumizi wa poliisi Maj. Gen. kale Kayihura, Minisita w’ebyokwerinda, Crispus Kiyonga n’abakungu ba Gavumenti abalala.  Â
Aba UPDF abaalwana babawadde emidaali