TOP

Seya aggyeyo ogwa DP mu kkooti

Added 1st February 2010

Looya wa Sebaggala, Hassan Kamba n’owa DP, Abdallah Kiwanuka baatadde omukono ku kiwandiiko kye baatwalidde omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Vincent Zehurikize aguli mu mitambo eggulo.

Ekiwandiiko kigamba nti “omusango guggyiddwaayo oluvanyuma lw’okutukakasa nti ttabamiruka w’ekibiina ag

Looya wa Sebaggala, Hassan Kamba n’owa DP, Abdallah Kiwanuka baatadde omukono ku kiwandiiko kye baatwalidde omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Vincent Zehurikize aguli mu mitambo eggulo.

Ekiwandiiko kigamba nti “omusango guggyiddwaayo oluvanyuma lw’okutukakasa nti ttabamiruka w’ekibiina agenda kubeerawo nga February 18, 2010 e Mbale’.

Kigattako nti enjuyi zombi tewali lujja kuliyirira lulala.

Wabula Sebaggala abadde yakaggyayo omusango mu kkooti ate Ssebaana ne banne ne bafulumya ekiwandiiko  ekiyimirizza ttabamiruka wa February 18 ne February 26 kwe yasinzidde okuggyayo omusango.

Ekiwandiiko kigamba nti okusinziira ku buyinza obwaweebwa pulezidenti wa DP, Ssebaana Kizito ne ssentebe Joseph Mukiibi enkung’aana zombi baziyimirizza okusobozesa akakiiko ka Dr. Ssemwogerere okugatta ebiwayi ebikaayana.

Kyokka Sebaggala yagambye nti singa ttabamiruka tatuula nga February 18, agenda kuddayo mu kkooti.

Seya aggyeyo ogwa DP mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...